Dean Henderson yeegasse ku Nottingham Forest okuva mu Man U ku bbanja

Jul 05, 2022

GOOLO kkipa wa Man U, Omungereza, Dean Henderson yeegasse ku Nottingham Forest ku bbanja okumala sizoni nnamba nga Forest ye y'okusasulanga omusaala gwe gwa mitwalo gya paawundi 110,000 ogwa buli wiiki mu bbanga ly'anaamalayo.

NewVision Reporter
@NewVision

Forest teweereddwa kawaayiro ka kugula Henderson, 25, era tajja kukkirizibwa kuzannya nga ttiimu mwa'alaze ezannya ne Man U mu Premier League. Kinajjukirwa nti n'omuwuwuttanyi wa Man U, James Garner sizoni ewedde yonna agimaze mu kiraabu eno n'agiyambako n'okujja mu Premier.

Dean Henderson Mu  Mujoozi Gwa Forest2

Dean Henderson Mu Mujoozi Gwa Forest2

United erangiridde mu butongole nti Henderson agenze, ng'ono yazannya emipiira esatu gyokka sizoni ewedde ng'ali wansi wa Ole Gunnar Solskjaer ne Ralf Rangnick.

'' Ndi musanyufu okwegatta ku Nottingham Forest ku bbanja era nneesunga nnyo okubazannyira,'' Henderson bw'awandiise ku mukutu gwe ogwa Twitter.

Related Articles

No Comment


(adsbygoogle = window.adsbygoogle || []).push({});