Ab'e Wakiso basunsudde ttiimu ezigenda okubakiikirira mu za Pulayimale eza disitulikiti zonna

Aug 06, 2022

EMPAKA z'amasaza mu masomero ga Pulayimale mu disitulikiti y’e Wakiso zikomekkerezeddwa ku kisaawe e Kasanje era ne balonda ttiimu egenda okubakiikirira disitulikiti y'e Wakiso mu za disitulikiti yonna mu Uganda ezigenda okubumbujjira e Masaka.

NewVision Reporter
@NewVision

Bya Khasifah Naava

Empaka zino ezatandika nga 15 omwezi oguwedde zaawedde eggulo nga 5 .August 2022 nga zeetabiddwaamu amasaza g’omu Wakiso okuli; Busiro South, Busiro North ng'eno ebadde wamu ne Busiro East saako ne Kyadondo .

Mu Busiro South mwabaddemu ttiimu zino; Kasanje, Katabi , Kajjansi, Nsanji ne n'e Kizinga Bussi.

Ate Busiro south ne East mwabaddemu; Wakiso, Kakiri, Masuliita ne Namayumba ate Kyadondo mwabaddemu; Kira ne Kasangati Town Council.

Munsipaali okuli Nansana, Entebe, ne Makindye zo zaazannye mu nkola ya njawuulo nga zeeyawudde ku Wakiso District Primary School Football Champion era nga zigenda kukiika e Masaka ku bwannamunigina nga Munisipaali.

Empaka z'omupiira zeetabiddwaamu abaana abalenzi abali wansi w’emyaka 12,14 ne 16 songa mu mpaka ez’abawala ez’okubaka n’okusamba omupiira era nazo zaafundikiddwa omulundi gumu olwo ne beerondamu ttiimu y'okubaka y'omupiira gw'ebigere ezigenda okubakiikirira mu za disitulikiti zonna e Masaka.

Ye ssentebe w’ebyenjigirizza n’ebyemizaanyo mu Wakiso, William Bwambale yagambye nti oluvannyuma lw'abaana okumala ebbanga eddene mu bitabo, ebyemizannyo bibayambako okuwummuza obwongo kuba ebyenjigiriza bitambulira wamu n'ebyemizaano.

Yayongeddeko nti ebyemizannyo biyambako okuzuula ebitone by'abaana n’obikulaakulanya nga bakyali mu myaka emito, n'agamba nti waakutambula ne ttiimu zino ezaalondeddwa okuli ey'abawala n'abalenzi abagenda okukiikirira disitulikti y'e Wakiso mu mpaka z'e Masaka.

Related Articles

No Comment


(adsbygoogle = window.adsbygoogle || []).push({});