Ebyemizannyo mu Bungereza buyimiriziddwa okusobola okukungubagira Kkwiini
Sep 10, 2022
ABAWAGIZI b’omupiira ne liigi eng’anzi eya Bungereza (English Premier League) bali mu kiyongobero oluvannyuma lw’ensiike zonna eza wiikendi eno okwongezebwayo awatali nnaku ziragiddwa ddi we zinaazannyibwa.

NewVision Reporter
@NewVision
Kiddiridde enjega eyagwiiridde ensi yonna eya Kkwiini wa Bungereza Elizabeth 11 eyafudde ku Lwokuna akawungeezi mu Lubiri lwa Balmoral Castle mu kibuga Aberdeenshire – Scotland.
Ku Lwokutaano abakungu ba ttiimu ez’enjawulo mu liigi ya Bungereza basizza kimu nga nkuyege okuwummuza emipiira gyonna egibadde girina okuzannyibwa wiikendi eno ne Mmande ejja wakati ng’abavujjirizi abamu bakiwakanya kuba Kkwiini si waakuziikibwa mangu.
Kino kyakoleddwa okussaamu ekitiibwa obulamu bwa Kkwiini obw’emyaka 96 kwe yaseereredde oluvannyuma lw’emyaka 70 ng’ali ku Nnamulondo alamula okuva 1952 kitaawe Ssekabaka George Vi lwe yakisa omukono.
“Emizannyo gyonna okuva eggulo Lwakutaano mu Bungereza, emipiira gya liigi z’abakazi, Golf, Cricket, n’ensiike endala nnyingi,” ekiwandiiko bwe kyategeezezza.
Okweraliikirira eri abawagizi naddala aba liigi y’oku ntikko mu Bungereza y’ensengeka y’emipiira ebadde enfuutiike, kw’ossa empaka z’ekikopo ky’ensi yonna (World Cup) egisuubirwa mu maaso awo, kati ate n’okuseerera kwa Kkwiini ne kw’ongereza ku lukulu.
Bannabyamizannyo bakungubagidde Kkwiini
Harry Kane kapiteeni wa ttiimu ya Bungereza ng’ayita ku mukutu gwa Twitter yategeezezza nti Kkwiini Elizabeth ii abadde wanjawulo nnyo era y’ensonga lwaki y’akyasinze okulwa ku Nnamulondo, ‘wummula mirembe Kkwiiki,’ Kane bwe yawunzise obubaka.
Tyson Fury eyaliko kyampiyoni w’ebikonde ow’ensi yonna mu buzito bwa Heavy Weight yasabye Katonda Katonda abeere wamu n’omwoyo gw’omugenzi.
Pele eyaliko omuteebi wa Brazil Lukulwe, yategeezezza nga bw’abadde yeegomba ennyo Kkwiini Elizabeth ii okuva 1968 lwe yasooka okumusisinkana bwe yakyalako mu Brazil. ‘Ebikolwa bye ebirungi birese omukululo ogw’okujjukirwa ebyasa n’ebyasa,” Pele bwe yategeezezza.
Cesc Fabregas Solar eyaliko kapiteeni wa Arsenal wandiise ebigambo bisatu ‘wummula mirembe Kkwiini,” Fabregas.
No Comment