Mu ‘quarter’ za Pepsi University League
Kyambogo 1–2 MUBS
ABAZANNYI ba yunivasite ya Kyambogo baayozezza ku mmunye oluvannyuma lwa MUBS okubalumba ku kisaawe kyabwe e Bbanda n’ebakubirayo ggoolo 2-1 mu gw’oluzannya olusooka ku ‘quarter’ za Pepsi University League.
Okumala eddakiika 85, Kyambogo ye yabadde yeefuze omupiira ng’egukulembedde ne ggoolo (1-0) eyateebeddwa Joram Lakea mu ddakiika eya 44.
Oluka kapiteeni wa Kyambogo ng'amaziga gamuyitamu.
Wabula omutendesi wa MUBS, Charles Ayiekho yalabye embeera emutabukidde kwe kuggyayo, Anthony Lokuta, Abdul Nasser Segaabwe, Justine Odong ne Raymond Marvin Witaikire, n’ayingiza Derrick Etuke, Benjamin Nazar, Suleiman Shafi Omar ne Trevor Wakaisuka.
Bano baakyusizza omupiira MUBS n’efuna ggoolo ey’ekyenkanyi mu ddakiika y’e 86 ng’eyita mu muyizzitasubwa waayo Sharif Ssengendo ate Benjamin Nazar eyavudde ku katebe n’akutula Kyambogo mu y’e 90.
Kino kyayongedde okulaga omutendesi Deo Sserwadda owa Kyambogo nti alina okukyusa ebintu bingi mu ttiimu ye okusobola okuwandulamu MUBS bwe banaaba badding’anye e Nakawa mu wiiki bbiri.
Desmond Oluka kapiteeni wa Kyambogo yagumizza abawagizi baabwe nti basobola okuwangulira e Nakawa ne ggoolo eziwera era ne bawandulamu MUBS kuba bagenda kutereeza ensobi ze baakoze.
Sharif Ssengendo eyateebedde MUBS emu ku ggoolo ezaabawangulidde omupiira guno, yalaze okunyolwa olw’omutindo gw’ekibogwe kwe baasambidde wadde baawangudde omupiira era n’awera nti bagenda kwongeramu amaanyi mu kutendekebwa nga Kyambogo tennabakyalira.
“Mpulidde bubi nnyo okututeebamu ggoolo kuba sizoni eno tubadde twagaana okuteebwamu wadde okuwangulwa, naye tubadde mu bibuuzo ne tutafuna budde bumala bwetegekera mupiira,” Ssengendo bwe yategeezezza.