Nkozi ne Bugema beeswanta kwesogga semi za University League

Bali ku kisaawe e Nkozi, UMU gy’ewangulidde ensiike zonna essatu z’ekyalizzaayo nga teteebeddwaamu sizoni eno awaka waayo. Yakubirayo Gulu (2-0), Kampala University (2-0) ne Ndejje University (5-0).

Ttiimu ya Uganda Martyrs Nkozi erinze kuttunka ne Bugema.
By Gerald Kikulwe
Journalists @New Vision
#Pepsi University League #Uganda Martyrs University #Bugema University #Meddie Nyanzi

Mu ‘quarter’ za Pepsi University League

UMU – Busitema, Nkozi

UGANDA Martyrs University (UMU) bakyampiyoni ba Pepsi University League 2017 beesize likodi y’awaka nga bakyazizza Bugema mu gw’okudding’ana ku ‘quarter’ za sizoni eno.

Leero (Lwakubiri) bali ku kisaawe e Nkozi, UMU gy’ewangulidde ensiike zonna essatu z’ekyalizzaayo nga teteebeddwaamu sizoni eno awaka waayo. Yakubirayo Gulu (2-0), Kampala University (2-0) ne Ndejje University (5-0).

Ttiimu ya Bugema erinze ssaawa okwang'anga Nkozi.

Ttiimu ya Bugema erinze ssaawa okwang'anga Nkozi.

Ensiike ya ‘quarter’ eyasooka wiiki bbiri emabega yaggweera mu maliri (1-1). Leero buli ttiimu yeeswanta kusuuza ginnaayo semi.

UMU ekomezzaawo Ivan Agumire, Weasly Aguma, Raymond Othieno, Kennedy Kasozi ne Titus Wambedde abataazannya nsiike eyasooka olw’obuvune, yeetaaga maliri agataliimu ggoolo olw’etteeka lya ggoolo y’oku bugenyi erigobererwa mu liigi ya yunivasite ate Bugema okuyitawo yeetaaga wiini.

Bugema mu mbeera y’emu ebadde ekola bulungi sizoni bbiri ezikyasembyeyo ku mutendera gwa ‘quarter’. Buli mwaka gw’etuuse ku ‘quarter’ ebadde yeesogga semi, sizoni eno eyagala kukuuma mutindo guno.