Karim Benzema awangudde eky'omuzannyi w'omupiira asinze mu nsi yonna
Oct 18, 2022
OMUZANNYI wa Real Madrid ne Bufalansa, Karim Benzema awangudde engule y'omuzannyi asinze okuzannya akapiira mu dduniya kuno owa 2022.

NewVision Reporter
@NewVision
Benzema yateeba ggoolo 44 mu mipiira 46 gye yazannyira kiraabu ye eya Real Madrid sizoni ewedde, n'abawanguza ekikopo kya liigi y'e Spain ekya LaLiga kw'ossa ekikopo kya Champions League.
Sadio Mane eyali owa Liverpool nga kati wa FC Bayern Munich ne Senagal yakutte kyakubiri ate Kevin De Bruyne owa Man City ne Belgium n'akwata kyakusatu.
Omuwuwuttanyi wa Barcelona, Gavi ye yawangudde ekya musaayimuto (abali wansi w'emyaka 21) eyasinze okuguzannya.
Sadio Mane yaweereddwa engule y'omuzannyi w'omupiira asinze okuddiza abantu naddala mu ggwanga lye erya Senegal.
Omuteebi wa Barcelona Robert Lewandowski, ye yawangudde engulo y'omuteebi eyasinga okuteeba goolo ennyingi, oluvannyuma lw'okuteebera Bayern Munich goolo 50 mu mipiira 46 sizoni ewedde.
Ggoolokkipa wa Real Madrid ne Belgium, Thibaut Courtois ye yatutte ey'omukwasi wa ggoolo eyasinze n'addirirwa owa Liverpool Alisson Baker, ate Ederson owa Manchester City n'akwata kyakusatu.
No Comment