Abakulira amasaza balabudde ku ffujo
Oct 26, 2022
AKAKIIKO akategeka empaka za masaza kasabye abakulembeze ba ttiimu ezizannyira mu mpaka zino okubeera eky'okulabirako eri abalala. Kino kiddiridde ensisinkano abakulembeze b'akakiiko kano gye baabaddemu n'abamu ku bakulembeze ba ttiimu z'amasaza ku Bulange e Mmengo eggulo mwe baateeserezza ku nsonga ez'enjawulo omwabadde n'eyebikolwa by'efujjo ebizzeemu okulabira mu mpaka z'omulundi guno.

NewVision Reporter
@NewVision
AKAKIIKO akategeka empaka za masaza kasabye abakulembeze ba ttiimu ezizannyira mu mpaka zino okubeera eky'okulabirako eri abalala.
Kino kiddiridde ensisinkano abakulembeze b'akakiiko kano gye baabaddemu n'abamu ku bakulembeze ba ttiimu z'amasaza ku Bulange e Mmengo eggulo mwe baateeserezza ku nsonga ez'enjawulo omwabadde n'eyebikolwa by'efujjo ebizzeemu okulabira mu mpaka z'omulundi guno.
"Tusaba abakulembeze ba ttiimu ezeetaba mu mpaka z'amasaza okubeera eky'okulabirako balekeraawo okwetaba mu bikolwa ebitta ekifananyi kyazo";bwatyo ssentebe w'akakiiko akaddukanya empaka zino ,Sulaiman Ssejjengo bwe yategeezeza abakulembeze bano.

Akavuvungano akaaliwo wakati wa Bulemeezi en Buddu
Ono era yaggumiza ku ky'obutattira ku liiso abantu bonna abeetabye mu bikolwa by'efujjo e Bulemeezi ng'agamba nti mu kiseera kino akakkiiko akakwaasisa empisa mu mpaka zino kakyagenda mu maaso n'okukola okunoonyereza ku bali emabega w'ebikolwa bino.Era bye banabeera bazudde bakubyeyambisa okukola okusalawo okunayamba okukomya ebikolwa eby'efujjo mu mpaka z'amasaza.
Yasuubizza nti akakiiko kano era kaakukolagana ne poliisi okuzuula abantu ssekinoomu abakulembera ebikolwa bino okukakasa ng'abantu be baakosa bafuna obw'enkanya kubanga abamu bali bagguddewo emisango ku poliisi ez'enjawulo e Bulemeezi.
Ebikolwa bye fujjo by'alabikidde mu ssaza lye Bulemeezi ,oluvanyuma lwa ttiimu ya Buddu okuwandula banyinimu(aba ttiimu ya Bulemeezi) mu mpaka z'omulundi guno mungeri abamu ku bawagizi ba Bulemeezi gye balumiriza okubeeramu amancoolo.
Era gye byaggweredde nga balumbye ddifiri Rajab Bakasambe(eyalamudde omupiira guno) ne bamukuba amayinja n'ensambaggere okutuusa poliisi bwe yamutaasiza n'emuddusa ku kisaawe.
Ekiruyi ky'okubalemesa okugajambula ddifiri ,bakimalidde ku bawagizi ba Buddu n'ezimu ku mmotoka zaabwe bwe babakubye amayinja n'okwasa endabirwamu zaazo.Era poliiis yagenze okuyingirawo ng'abasinga battonya musaayi olw'embale ez'amaanyi ze babatuusizzaako.
Kino kye kiwalirizza akakiiko okutandika okunoonyereza ku fujjo lino n'okusaba abakulembeze ba ttiimu z'amasaza okubeera eky'okulabirako bakome ku bawagizi baabwe okwetaba mu bikolwa eby'ekika kino.
Related Articles
No Comment