Senegal enoonya buwanguzi ku Bungereza

Dec 04, 2022

ABAFIRIKA bonna bali ku ssaala nga basabira Senegal bakyampiyoni baabwe babataase ku kikwa eky’emyaka gyonna nga tebafuna buwanguzi ku Bungereza mu byafaayo bya World Cup.

NewVision Reporter
@NewVision

Leero mu ttiimu 16 eza World Cup

Bufalansa – Poland (12:00)

Bungereza – Senegal (4:00)

Leero (Ssande) Senegal ettunka ne Bungereza ku mutendera ogwa ttiimu 16 ogwaggyiddwaako akawuuwo eggulo (Lwamukaaga) wakati wa Buddaaki ng’efaafagana ne USA ate Argentina yabadde bugyefuka ne Australia.

Bungereza esisinkanye ttiimu za Afrika emirundi 7, ewanguddeko 4 n’amaliri ga mirundi esatu. Guno mulundi gwa 8 Bungereza okuddamu okusisinkana ttiimu ya Afrika era ssinga Senegal efuna wiini, ejja tuba etaddewo ekyafaayo kya ttiimu ya Afrika esoose okufuna obuwanguzi ku Bungereza.

Mu gy’ekibinja F ekya World Cup wa 1990, Bungereza yakuba Misiri (1-0) ate ku ‘quarter’ n’ewandulamu Cameroon (3-2). Era mu gy’ekibinja G ekya World Cup ya 1998, Bungereza yakuba Tunisia (2-0) n’egidda mu biwundu (2-1) ku mutendera gwe gumu (2018). Yakola (0-0) ne Morocco 1986, (0-0) ne Nigeria mu 2002, (0-0) ne Algeria (2010) gyonna gyali gya bibinja bya World Cup.

Senegal okutuuka ku mutendera guno yamalidde mu kyakubiri n’obubonero 6 mu kibinja A ekyakulembeddwa Budaaki ku bubonero 7, ate Bungereza ye yakulembedde ekibinja B ku bubonero 7.

Senegal baakoma okutuuka ku ‘quarter’ final za World Cup mu 2002 wabula ogwo omwaka gwabasera anti baamala emyaka 16 nga tebakiika mu world cup okutuusa 2018 lwe baawandukira mu kibinja.

Bungereza

Bungereza

Bajja mu mupiira guno nga tebalina Sadio Mane, Idrissa Gana Gueye ali ku kibonerezo kya kkaadi ezakyenvu bbiri, waakukomawo ku ‘quarter’ ssinga bayitawo ne Cheikhou Kouyate alina obuvune. Wabula baakwesigama nnyo ku kapiteeni waabwe Kalidou Koulibaly, ggoolokippa Edouard Mendy n’abalala.

Abawagizi ba Bungereza baawuliddwaako nga bayimba nti ekikopo bakitwala oluvannyuma lwa ttiimu yaabwe okukulembera ekibinja, ekibadde kikyaludde okulabika okuva 2006, newankubadde ewedde (2018) baawandukira ku semi bwe baakubwa Croatia (2-1).

Omutendesi wa Bungereza Gareth Southgate mu mupiira ogusembyeyo mu kibinja yatuuzizza Kieran Trippier, Mason Mount, Bukayo Saka ne Raheem Sterling, yabasikiza Kyle Walker, Jordan Hernderson, Phil Foden ne Marcus Rashford.

Foden yateebye ggoolo ye esooka ku Bungereza mu World Cup ne Rashford n’ateeba bbiri. kino kiyinza okuyinula Southgate okukyusa ttiimu gye yatandika nayo emipiira ebiri egyasooka.

Rashford, Sterling, Declan Rice, Jude Bellingham ne Hernderson z’enkyukakyuka ezisuubirwa okutandisa, kw’ossa John Stones ne Harry Maguire mu kisenge wabula akabuuza kali ku Trippier ne Walker ani asookayo.

Awangula ku babiri bano waakusisinkana awangula wakati wa Bufalansa ne Poland ku ‘quarter’

Related Articles

No Comment


(adsbygoogle = window.adsbygoogle || []).push({});