Ow'ebikonde Shadir Bwogi asitukidde mu ngule ya ‘Fortebet Real Star Monthly Award’
Feb 07, 2023
OMUGGUNZI w’enguumi Shadir Musa Bwogi asitukidde mu ngule ya ‘Fortebet Real Star Monthly Award’ ey’omwezi gwa January w’omwaka guno.

NewVision Reporter
@NewVision
Kiddiridde omutindo gwe yayolesezza bwe yabadde akuba Omupoliisi Ivan Magumba ekikonde tonziriranga gwe yawangulidde mu ddakiika 2 zokka n’obutikiti 51.
Obuwanguzi buno bwamuyambye okusitukira mu musipi gw’eggwanga ogwa ‘National Super Middleweight Title’
Omukolo Shadir kwe bamukwasirizza engule ye gubadde ku Route 256 Bar e Lugogo ku makya ga leero ku Lwokubiri.
Shadir Musa
Shadir amezze Yusuf Babu eyakubye Omutanzania Alphonce Masumbuko ‘Muchumiatumbo’ mu buzito bwa Heavy kwosa Abdul Aziz Ssebulime aggundira eng'uumi e Dubai.
Mu balala abaawangudde; Henry Nsekuye yasinze mu Rugby, Waleed Omar n'amegga aba pikipiki z’empaka, Rasheeda Mutesi n'asinga mu ‘Pool’ ate Ronald Lutaaya n'awangula aba Cricket.
Omukolo gwetabiddwaako Alex Muhangi ambaasada wa Fortebet, Henry Zimbe owa Jude Colur Solutions, Isaac Mukasa omutegesi n’abalala.
No Comment