NIC ne Prisons zeeraze eryanyi mu za East Africa

May 16, 2023

Kiraabu ya Prisons ne NIC zongedde okuteeka Uganda ku maapu mu mpaka z'okubaka eza kiraabu empanguzi mu buvanjuba bwa Africa eza East Africa Netball Championships eziyindira mu kibuga Nairobi ekya Kenya.

NewVision Reporter
@NewVision

Kiraabu ya Prisons ne NIC zongedde okuteeka Uganda ku maapu mu mpaka z'okubaka eza kiraabu empanguzi mu buvanjuba bwa Africa eza East Africa Netball Championships eziyindira mu kibuga Nairobi ekya Kenya.Prisons nga kati ewezeza emipiira essatu  gyeyakawangula mu mpaka zino esitaanye okumega Ulinzi eya Kenya ku ggoolo 49 ku 30.

Nic 4

Nic 4

Ekitundu ekisooka kiwumudde Prisons ekikulembedde ku ggoolo 26 ku 11.Mukitundu kyomuzannyo ekyokubiri omuteebi wa  Prisons  Christine Namulumba asinziza abazibizi  ba Ulinzi ensumika okukakana nga Prisons ewangudde omupiira ogwokusatu mu mpaka zino ku ggoolo 49 ku 30.Prisons yekiraabu yokka etanakubwamu mu kibinja ekyokubiri (B)nga ekikulembedde nobubonero mukaaga.Bannayuganda abalala abadde mu nsiike mu kibinja ekisooka aba NIC nabo bawangudde KJT eya Tanzania ku ggoolo 56 ku 46.Mu mpaka zino eza East Africa Netball Club Championships ezatandika ku lwomukaaga lwa wiiki ewedde zikomekerezebwa ku lwamukaaga lwa wiiki eno mu kibuga Nairobi ekya Kenya.Mu mpaka zino Uganda yakiikiriddwa kiraabu ttaano nga ezabakazi kuliko Makindye Weyonje, NIC ne PRISONS nga ez'abasajja ye Kampala University ne WOB.
Related Articles

No Comment


(adsbygoogle = window.adsbygoogle || []).push({});