Omutendesi wa She Cranes asazeeko 9 nga ttiimu yeesogga enkambi
Jun 04, 2023
OMUTENDESI wa She Cranes ey’eggwanga ey’okubaka Fred Mugerwa Tabale asazeeko abazannyi 9 nga ttiimu yeesogga enkambi y’okusuzibwayo ku African Bible University e Lubowa.

NewVision Reporter
@NewVision
OMUTENDESI wa She Cranes ey’eggwanga ey’okubaka Fred Mugerwa Tabale asazeeko abazannyi 9 nga ttiimu yeesogga enkambi y’okusuzibwayo ku African Bible University e Lubowa.
She Cranes ebadde emaze omwezi gumu n’ekitundu ng’abazannyi 28 bava mu maka gaabwe okujja okutendekebwa ku kisaawe kya Kamwokya Sports center okutuusa leero (Ssande June 4, 2023) lwe beesozze enkambi y’okusuzibwayo.
Abazannyi 19 nga bwe balinda Mary Nuba Cholhok owa Loughborough Lightning eya Bungereza asuubirwa okubeegattako ssaawa yonna be beesozze enkambi wabula ku Lwokubiri minisita omubeezi ow’ebyemizannyo Peter Ogwang bw’aggulawo mu butongole okusuzibwayo kwa ttiimu.
She Cranes
Abasaliddwaako kuliko; Zam Sera (NIC), Godliver Aguti (UPDF), Harriet Amoding (Makindye Weyonje), Penelope Amiya, Victoria Nantumbwe (NIC), Viola Asingo, Tausi Mumena ne Malisera Akello (aba Prisons), Bashira Nassaazi (UCU).
Omutendesi Fred Mugerwa Tabala yasabye abazannyi 9 abasaliddwaako obutaggwaamu maanyi basigale nga bakola ebyenjawulo okulinnyisa omutindo omulundi oguddako nabo bajja kugenda kuba omulundi guno batwala 15 bokka.
She Cranes beetegekera empaka z’ensi yonna (World Netball Championship) ezinabeera mu Cape Town ekya South Africa wakati wa July 28 ne August 6, 2023 mu kisaawe kya International Convention Center.
Ensi 16 ze zigenda okwetaba mu mpaka zino mu bibinja 4 nga Uganda yaakuvuganyiza mu kibinja D omuli; New Zealand, Trindad and Tobago ne Singapore gy’eggulawo (July 28).
Abazannyi 19 abaayingidde enkambi;
Abateebi; Christine Kango Namulumba (Prisons), Asinah Kabendela (Makindye Weyonje), Mercy Batamuliza, Irene Eyaru, Shadia Nassanga Sseggujja (aba KCCA).
Abawuwuttanyi; Margaret Baagala ne Sarah Nakiyunga (aba NIC), Norah Lunkuse ne Annet Najjuka (aba KCCA), Lilian Achola (Weyonje) ne Joyce Nakibuule (Prisons).
Abazibizi; Shakira Nassaka ne Faridah Kadondi (aba Makindye Weyonje), Hannisha Muhameed Nakate, Christine Nakitto ne Shaffie Nalwanja (aba KCCA), Privas Kayeny (NIC), Stella Nanfuka (Prisons)
No Comment