Biibino ebisalawo ogwa Arsenal ne Spurs

Sep 23, 2023

ARSENAL bw’esumululira Spurs kimu kyakubiri ku mupiira gwe yasumuludde ku PSV, Spurs tesobola kusigaza mutwe waggulu.

NewVision Reporter
@NewVision

SSANDE MU PREMIER

Arsenal - Spurs, 10:00

ARSENAL bw’esumululira Spurs kimu kyakubiri ku mupiira gwe yasumuludde ku PSV, Spurs tesobola kusigaza mutwe waggulu.

Abalenzi baazannye omupiira ng’oyinza okulowooza nti balwanira kikopo kya Champions League. Akawoowo, okulabagana, ggoolo, ennyanda, okusala ne Kai Havertz okwaka byonna byabaddemu.

Abawagizi ba Arsenal bandyagadde okuddamu okulaba ku ttiimu yaabwe ng’ezannya omupiira ekika ekyo naddala ku ttiimu gye basinga obutayagala e London. Spurs ewaga, ekimanyi nti guno gwe mukisa gw’erina okukuba Arsenal, eyabakuba awaka ne ku bugenyi sizoni ewedde.

Arsenal nayo yeeswanta, egamba nti okufaananako nga sizoni ewedde we basangira Spurs nga tennakubwamu ne bagikuba, ne ku luno bagenda kugikuba.

Spurs yali tennakubwamu mu mipiira 7 gye yagguzaawo sizoni kyokka ku gwomunaana, Arsenal n’ebakuba. Awo sizoni yaabwe eyali erabise okuba ennungi we yafiira, Antonio Conte n’agobwa okukkakkana nga tebakiise.

HAVERTZ AKOMAWO MU TTIIMU ETANDIKA?

Wiikendi ewedde Kai Havertz teyatandika mupiira oluvannyuma lwa Mikel Arteta okutandisa Fabio Vieira.

Havertz tannaba kufuuka muganzi mu Arsenal era bw’atatandika bangi ku bawagizi basanyuka.

Kye batamanyi nti Arteta yali amutegekera gwa Champions League era bwe baatuuse ku PSV, omupiira yagutandise n’agumalako.

Kino kye kireetedde aba Arsenal okuddamu okufuna ekirowoozo nti osanga ne wiikendi eno Arteta agenda kumukomyawo.
Vieira, azannya bulungi. Ayanguwa okusalawo era takuumira nnyo mupiira ku kigere. Alina sipiidi okusinga Havertz era alwanira omupiira ate nga n’omupiira agumanyi.

Sipiidi ya Havertz ekyali wansi bw’ogigeraageranya ku Vieira. Havertz, talinaayo ggoolo wadde asisiti ate ng’azannye eddakiika nnyingi bw’omugeraageranya ku Vieira alina asisiti 2.

Nga Thomas Partey akyali mulwadde, bangi ku bawagizi ba Arsenal bandyagadde okulaba ku Vieira mu makkati.

Related Articles

No Comment


(adsbygoogle = window.adsbygoogle || []).push({});