URA ekyasibidde ku Muhumuza

Oct 27, 2023

Leero (Lwakutaano) mu liigi ya StarTimes (10:00); Maroons - URA, Luzira Bright Stars - Vipers, Mwererwe UPDF - Express, Bombo ABAKUNGU ba URA FC, bapondoose ku ky’okuleeta omutendesi omuggya sizoni eno okudda mu bigere bya Sam Timbe eyava mu bulamu bw'ensi gye buvuddeko.

NewVision Reporter
@NewVision

Leero (Lwakutaano) mu liigi ya StarTimes (10:00); Maroons - URA, Luzira Bright Stars - Vipers, Mwererwe UPDF - Express, Bombo ABAKUNGU ba URA FC, bapondoose ku ky’okuleeta omutendesi omuggya sizoni eno okudda mu bigere bya Sam Timbe eyava mu bulamu bw'ensi gye buvuddeko.
Mu kiseera kino ttiimu eyambibwako Fred Muhumuza nga omutendesi ow’ekiseera wamu ne Robert Mukasa, Byron Okuba ne Swaibu Ssebaggala owa baggoolokippa.
Gye buvuddeko wabaddewo amawulire agalaga nti eyaliko omuzannyi wa Cranes, David Obua nti yatuuka ku nzikiriziganya n’abakungu ba URA okutwala obutendesi obwo. Obua azze alabwako ku mipiira gya ttiimu eno nga ne wiiki ewedde nga bawangula Wakiso Giants (1-0), yabaddewo ng'ali mu mujoozi gwa ttiimu eyo ekyaleseewo ebibuuzo mu bawagizi.
Okusinziira ku nsonda, Muhumuza yali waakukwatibwa ku nkoona wabula oluvannyuma lw’okuwangula emipiira ebiri n’amaliri g'emirundi ebiri sizoni eno, omutindo guno gucamudde abamu ku bakungu ba ttiimu eno ne batayagala kumuggyawo nti kyanditaataaganya ttiimu. Wabula waliwo abakungu
abalala abalina endowooza nti wadde nga Muhumuza alabika nga ttiimu agitereezezza,
bakyamatira Obua gwe bagamba nti waakutuusa ttiimu eno ku ddaala eddala. Kigambibwa nti abaagala Obua baagala Muhumuza amumyuke kyokka nga ye  (Obua) ayagala kujja n'abamyuka be (Badru Kaddu eyali ku KCCA FC n'abalala). Kino kyaleeseewo okutya nti okuleeta ttiimu y'abatendesi bonna nga mpya, kijja kuzza emabega.
Akulira emirimu mu URA FC, Allan Munaaba yatangaazizza nti mu kiseera kino  by’okuleet omutendesi omuggya bakyabitadde ku bbali kuba omutendesi
aliwo omulimu agukutte bulungi.
“Obua abeera ku mipiira gyaffe nga omuwagizi omulala yenna. Okulaba emipiira gino tekirina kakwate konna ku bya mutendesi waffe. Kituufu twali tukirowoozaako naye twalemwa okutuuka ku nzikiriziganya era mu kiseera kino Muhumuza waakusigala nga
omutendesi, ebirala tunaabiraba gye bujja,” Munaaba bwe yatangaazizza. Bukedde bwe yayogeddeko ne Muhumuza, yagambye nti endagaano ekyali ya mumyuka wa mutendesi era alindiridde bakama be kye basalawo singa eneeba eweddeko.
Leero (Lwakutaano), URA bakyalira Maroons n’obusungu nga baagala kugyesasuza bwe yabakubira e Bombo (3-2) mu gwe baasembayo mu liigi sizoni ewedde. Abazannyi ba URA ababadde ku buvune okuli; James Penzi Begisa, Bruno Bunyaga ne Sharif Kimbowa bassuuse wadde nga Godfrey Ssekibengo ne Justin Opiyo baagenze kukola bigezo. URA yaamukaaga ku bubonero 8 mu mipiira 4. Mu ngeri y'emu Vipers ekyalidde Bright Stars ng'eyagala buwanguzi okusemberera Kitara ne BUL ezikulembedde. Vipers yaakutaano ku bubonero 8 mu mipiira ena

Related Articles

No Comment


(adsbygoogle = window.adsbygoogle || []).push({});