KCCA eri ku kigezo
Oct 31, 2023
OMUTENDESI wa KCCA FC, ow’ekiseera, Jackson Magera ali ku kigezo okufunira ttiimu eno wiini ye esooka bwe banaaba battunka ne Arua Hill mu liigi ku bugenyi.

NewVision Reporter
@NewVision
Mu StarTimes Uganda Premier League;
Arua Hill - KCCA FC, 10:00
Mbarara City - Bright Stars, 10:00
BUL FC - URA FC, 10:00
Vipers SC - Wakiso Giants, 1:00
OMUTENDESI wa KCCA FC, ow’ekiseera, Jackson Magera ali ku kigezo okufunira ttiimu eno wiini ye esooka bwe banaaba battunka ne Arua Hill mu liigi ku bugenyi.
Magera, yasikidde Sergio Traguil, eyafuumuddwa wiiki ewedde ng'abakungu ba KCCA bamulanga okwolesa omutindo ogw'ekibogwe. Mu mipiira ena Traguil gye yatendeka KCCA mu liigi, teyafunayo wadde akabonero ekyavuddeko okumugoba.
Ku Lwokuna lwa wiiki ewedde, Magera yatandise emirimu gyeku KCCA kyokka naye yakubiddwa NEC (2-0) e Lugogo kyokka abawagizi abamu ne bamuddiramu kuba gwe mupiira ogwasoose nti n'abazannyi baabadde tebekkiririzaamu. Bamulinze mu nsiike ya leero nga basisinkanye Arua Hill eri wansi wa Livingstone Mbabazi KCCA yaakasisinkana Arua Hill enfunda nnya mu liigi nga bawanguddeko bbiri, amaliri gumu n’okukubwa gumu. Ne Mbabazi awaga nti obuwanguzi bwe obusooka mu liigi sizoni eno agenda kubuggya ku KCCA ekoobedde.
Ttiimu zombi tezirinaayo kabonero konna kyokka KCCA esembye lwakuba ebanjibwa ggoolo nnyingi okusinga ku Arua Hill. Ebanjibwa 7 ate Arua Hill 6. Guno gwe mupiira buli omu gw'alwana okweggyako ekikwa ng'afuna obubonero obusooka sizoni eno akomyewo emitima gy'abawagizi.
URA ESUUZA BUL?
Mu ngeri y’emu URA FC ekyalidde BUL ku kisaawe kya FUFA Technical Center e Njeru. BUL y'ekulembedde liigi nga tennakubwamu wadde okusuula akabonero konna mu mipiira etaano.
Abawagizi ba BUL baagala buwanguzi okusigala ku ntikko ssaako okukuuma likodi y'obutakubwamu sso ng'aba URA baagala wiini bongere okusemberera ttiimu eziri ku ntikko.
URA eri ku bubonero mwenda mu mipiira 5. Omutendesi wa URA, Fred Muhumuza alina essuubi nti abazannyi be bajja kuggya wiini e Njeru. Muhumuza ayagala kukakasa bakama be nti ye mutendesi agwanidde okutwala URA mu maaso ng'awangula omupiira guno.
BUL ekubye ttiimu ennene okuli KCCA (1-0) ne SC Villa (2-1).
No Comment