URA FC Egobye n’ewa abawagizi essanyu

Dec 11, 2023

OMUTENDESI wa URA, David Obua, yafunye ku ssanyu bwe yaduumidde ttiimu yen’ekuba Arua Hill (4-1) mOMUTENDESI wa URA, David Obua, yafunye ku ssanyu bwe yaduumidde ttiimu yen’ekuba Arua Hill (4-1) mu liigi y’eggwanga.u liigi y’eggwanga.

NewVision Reporter
@NewVision

Leero mu liigi
UPDF - Mbarara City
Egyazannyiddwa
URA 4-1 Arua Hill
BUL 1-1 NEC
Wakiso 3-0 Busoga
OMUTENDESI wa URA, David Obua, yafunye ku ssanyu bwe yaduumidde ttiimu ye
n’ekuba Arua Hill (4-1) mu liigi y’eggwanga.
Baabadde Lugazi eggulo mu maka ga URA nga bannyinimu baaguyingidde bali ku puleesa olw’omutindo gwabwe ogubuzaabuza.
Baabadde basembye kukubwa NEC (2-0) e Lugogo ekyatadde Obua mu kattu. Wabula eggulo yaggyeeyo obukodyo obupya obwabuzizza mutendesi munne Livingstone Mbabazi owa Arua Hills embiibya.
Mbabazi yatendekako URA nga kyabadde kisuubirwa okugikalubirako. Safi Agu Mansoor ye yasoose okuteebera Arua Hill mu ddakiika yoomukaaga olwo aba URA ne balowooza nti era bizzeemu kyokka Joseph Ssemujju yabagikubidde ggoolo eyasoose okwazze eya Ibrahim Wamanah.
Oluvannyuma era Ssemujju yazzeemu n’ateeba eyookusatun’eyookuna. Kati emipiira 5, Obua alinamu wiini 2, okukubwa 2 n’okulemagana gumu.

Related Articles

No Comment


(adsbygoogle = window.adsbygoogle || []).push({});