Lwaki Vipers yagobye Omubrazil

Dec 27, 2023

JOSE Esdras Costa Lopez abadde omumyuka wa Leonard Neiva ku butendesi bwa Vipers, yaatunuuliddwa okuweebwa ekifo ky’omutendesi omujjuvu. Neiva, yagobeddwa oluvannyuna lwa BUL okulumba Vipers e Kitende n’egikubirawo (3-2) mu liigi y’eggwanga ekyatabudde nnyiniyo, Dr. Lawrence Mulindwa n'afuumuula Neiva.

NewVision Reporter
@NewVision

JOSE Esdras Costa Lopez abadde omumyuka wa Leonard Neiva ku butendesi bwa Vipers, yaatunuuliddwa okuweebwa ekifo ky’omutendesi omujjuvu. Neiva, yagobeddwa oluvannyuna lwa BUL okulumba Vipers e Kitende n’egikubirawo (3-2) mu liigi y’eggwanga ekyatabudde nnyiniyo, Dr. Lawrence Mulindwa n'afuumuula Neiva.
Ensonda mu Vipers zigamba nti Lopez enzaalwa y’e Brazil, y’agenda okutwala omulimu guno nga bwe bongera okwetegereza enkola ye. Omu ku bakungu mu Vipers, yagambye nti okugoba Neiva tekyagudde bugwi wabula Mulindwa abadde yamwemulungunyako dda olw’okuzannya omupiira ogutanyuma ate nga yamugulira buli muzannyi gwe yasaba.
“Tukwebaze byonna byokoledde Vipers era tukwagaliza ebirungi mu lugendo olupya," ekiwandiiko Vipers kye yatadde ku mukutu gwayo bwe kyasomye.
Vipers yasooka kuwanduka mu CAF Champions League ku luzannya olusooka bwe yakubwa Jwaneng Galaxy ey’e Botswana. Mu liigi, Vipers yaakubiri emabega wa BUL. Ekimu ku byasinze okunyiiza Mulindwa ye BUL okubakubira mu kisaawe kye baafuula akattiro. Babadde baasemba kukubwa URA mu November wa 2021.
Vipers, bakyampiyoni ba sizoni ewedde, bazzaako muggya waabwe Express ku Lwokutaano e Wankulukuku. Mu mipiira gya liigi 12, Neiva awanguddeko 7, bamukubye 2 n’amaliri 3
EBIRIRA EBIGOBEZA NEIVA
Omupiira ogutanyuma; Obutawangula, Neiva yagasseeko okulabisa abawagizi ba ttiimu eno omupiira ogw’obunkenke. Ku Kitara, FUFA yakkiriza nti ggoolo ya Kitara yali ntuufu era neekaliga ddiifiri, Juma Osire. Kino nakyo kigambibwa nti Mulindwa kimulabisa bubi nga kiva ku mutendesi kutendeka bubi.
Wadde baawangula UPDF (1-0), kigambibwa nti kyava ku ntendeka ya Neiva ey’ekibogwe. Mu ngeri y’emu, ne Ibrahim Mugisha abadde omutendesi wa baggoolokipa ku Vipers, yagyabulidde

Related Articles

No Comment


(adsbygoogle = window.adsbygoogle || []).push({});