Express FC etongozza omujoozi gwayo omupya n'ewaga

Sep 13, 2024

Ttiimu ya Express ddiiru eno yagikutudde n’aba Semabet era yaakumala omwaka mulamba nga babawa emijoozi , engatto sookisi saako ebikozesebwa ebirala bingi ebinaabayamba okudda ku ntikko.

NewVision Reporter
@NewVision

Ttiimu ya Express ddiiru eno yagikutudde n’aba Semabet era yaakumala omwaka mulamba nga babawa emijoozi , engatto sookisi saako ebikozesebwa ebirala bingi ebinaabayamba okudda ku ntikko.

Ebigenda okubaweebawa byakukozesebwa mu Uganda premier League  ya sizooni eno eya 2024 /2025.

Abazannyi ba Express FC nga beesaze obujoozi obupya.

Abazannyi ba Express FC nga beesaze obujoozi obupya.

Kkampuni ya Semabeti etaddemu obukadde obusukka mu 500  nga zino zaakuyamba Express mu bintu ebitali bimu wabula ng’era okuteeka emikono ku ndagaano okuzibakwasa bakkaanyizza nti bakyasobola okuzza obuggya enteekateka eno oba okujongera mu maaso okumala ebbanga lye baagala.

Andrew Kitamirike, yagambye nti ekigendererwa kyabwe kyakutumbula byamizannyo naddala  omupiira mu ggwanga  ng’era baakuyambako okukola tulansifa za bazannyi ab’enjawulo nga babayingiza ekibiina kino. 

Ku Mmande ya wiiki ejja, ttiimu ya Express esuubirwa okuzannya n’eya Mbale Heros ku kisaawe ky’e Nakivubo (ekya Ham) mu kibuga Kampala.

Related Articles

No Comment

(adsbygoogle = window.adsbygoogle || []).push({});