Emyaka 100 egya FUFA gibadde gya buwanguzi
Oct 05, 2024
NGA FUFA eteekateeka ebikujjuko by’emyaka 100, erina okusiima abo bonna abatadden ettoffaali ku nzirukanya yaayo n’omupiira gwonna okutwalira awamu.

NewVision Reporter
@NewVision
NGA FUFA eteekateeka ebikujjuko by’emyaka 100, erina okusiima abo bonna abatadden ettoffaali ku nzirukanya yaayo n’omupiira gwonna okutwalira awamu.
Tulindiridde n’essanyu n’okwesunga ebikujjuko bino ebinaaleka nga buli omu amatidde. Kya mukisa munene nnyo okwefumiitiriza ku byafaayo bya FUFA okuva lwe yatandikawo mu 1924 kuba abantu ssekinnoomu bangi nnyo batadde ettoffaali ku nkulaakulana y’omupiira mu Uganda mu kyasa ekiyise.
Ebyafaayo bya FUFA bijjudde amatiribona g’obuwanguzi obutuukiddwaako omuli obwa
wano okuviira ddala mu byalo n’ebweru. Obuwanguzi buno emirundi mingi buvudde ku nzirukanya ennungi eya FUFA ng’abakozi baayo bassa mu nkola ebyo olukiiko olufuzim bye luba luyisizza. Nga tujaguza emyaka 100, tulina essuubi nti emyaka emirala gigenda kuba ntandikwa y’ebyafaayo eri emirembe egijja. Buli kisaawe kirimu abantu ab’enjawulo ababifudde eby'amaanyi. Mu byobufuzi, ennyimba ne katemba n’ebirala yonna waliyo abantu abakoze eddimu. Omupiira gwaffe guzimbye eggwanga nga guyita mu bukulembeze obw’enjawulo okuva mu 1924. Omupiira gukulembeddwa bapulezidenti 27 mu myaka 100 okuviir ddala ku Ssekabaka Daudi Chwa II. Pulezidenti wa FUFA ow’ebyafaayo, Moses Magogo lina okuba omusanyufu kuba ebikujjuko
bino gwe bisanze mu ntebe ate ng’ataddewo omukululo ogutenkanika. Nga FUFA ekyagenda mu maaso okukyusa ekifaananyi ky’omupiira, kikulu abawagizi okukimanya
nti omupiira guno gwe bayaayaanira, bangi nnyo bagutaddeko ettoffaali okugutuusa we guli kati. Oyinza okuba nga tokkaanya na Magogo nga omuntu naye alina ttiimu ey’amaanyi eweerezza omupiira guno mu kwewaayo n’okwagala. Magogo akozeeko
n’abakulembeze abaasookawo omuli; Dr. Lawrence Mulindwa, gwe yaddira mu bigere.Mulindwa ajjukirwa nnyo mu kutumbula erinnya lya Cranes wakati wa 2005-2013 we yakulemberera FUFA.
Bwe yava awo, essira n’alissa ku kuddukanya ttiimu ye eya Vipers gy’azimbidde n’ekisaawe. Mulindwa n’abakulembeze abalala bagwanidde okwogerwako olw’omulimu gwe baakola naddala mu kiseera nga FUFA etandise ebikujjuko by’emyaka 100. Omupiira gwa Ugand guvuddemu abazannyi bannantawunyikamu okuli; Baker Kasigwa, Phillip Omondi, Polly Ouma, Denis Obua, Paul Ssali, Magid Musisi, Jackson Mayanja, Andrew Mukasa 'Fimbo', Annet Nakimbugwe, Hasifah Nassuuna, Issa Sekatawa n’abalala ate nga kyeyoleka lwatu nti ekyasa ekiddako, kyakuleeta ab’ebitone abalala bangi.
Ebiteeso ebyavudde mu ttabamiruka wa FUFA ow’omulundi ogw’e 100 eyabadde ku Maya Nature Resort mu Wakiso ku Lwokutaano, bijja kussaawo embeera esobozesa olugendo olunaawa emijiji emiggya entandikwa okutegeka
ttabamiruka n'ebikujjuko by'emyaka 100
No Comment