Omutindo gwa Villa guyombya abawagizi
Dec 16, 2024
TTIIMU za liigi ennene okuli; Express, Vipers ne Villa zaayise mu wiikendi nga zinyiga biwundu oluvannyuma lw’okusuula obubonero.

NewVision Reporter
@NewVision
Vipers 1-1 BUL
Express 1-2 URA
Villa 1-1 Police
TTIIMU za liigi ennene okuli; Express, Vipers ne Villa zaayise mu wiikendi nga zinyiga biwundu oluvannyuma lw’okusuula obubonero.
Wabula bakyampiyoni ba liigi aba SC Villa be baasinze okukafiiramu Police bwe yabavudde emabega okulemagana 1-1 e Wankulukuku.
Villa yawezezza emipiira 3 egiddiring’ana nga terina buwanguzi. Omupiira guno gwatabudde abawagizi ne basaba omutendesi waabwe, Morley Byekkwaso akyuse
mu ntendeka ye kuba bayitiridde okukaaba. Kati mu mipiira 9 egisembyeyo,
Villa erina wiini 2 zokka ekitiisa abawagizi nti ttiimu yaabwe ezzeemu okusereba.
Villa yaamunaana ku bubonero 16 mu mipiira 12.
Mu ngeri y’emu, BUL yazzeemu okulaga nti Vipers tegitiisa bwe yagirumbye e Kitende n’ekola amaliri ga (1-1). Sizoni ewedde, BUL yawangula eka ne ku bugenyi.
Amaliri gano gaalemesezza Vipers okugenda ku ntikko n’esigala mu
kyokubiri ku bubonero 25 emabega wa NEC ekulembedde ku 26. Express eyakubiddwa URA, erina obubonero 19.
No Comment