Olukiiko olugenda okutegeka amazaalibwa ga Ssabasajja Kabaka lutongozeddwa

OLUKIIKO olugenda okutegeka amazaalibwa ga Kabaka Ronald Muwenda Mutebi II ag'emyaka 67 lutongozeddwa ng'emikolo gino yasiimye gibeere mu Lubiri e Mmengo nga April 13,2022.

Olukiiko olugenda okutegeka amazaalibwa ga Ssabasajja Kabaka lutongozeddwa
By Dickson Kulumba
Journalists @New Vision

Ng'atongoza olukiiko luno enkya ya leero e Bulange Mmengo, Katikkiro wa Buganda Charles Peter Mayiga ayongedde okulambulula obukulu bw'okukuza amazaalibwa ga Kabaka n'agoogerako ng'agaggyayo obuwangwa n'ennono za Buganda.

Katikkiro Mayiga era ayongedde okusaba abantu ba Buganda okwetegekera emikolo wadde olw'embeera y'Ebyobulamu eyaleetebwa ekirwadde kya kkolona ng'abantu abatasukka 300 be bajja okwetaba ku mukolo guno.

Klesia y'Abasodokisi y'egenda okukulembera okusaba ku mukolo guno era ssentebe w'olukiiko olutongozeddwa okutegeka, David Fredrick Kisitu Mpanga ategeezezza nti Obuganda bwakukozesa omukisa guno okukulisa Klesia olw'okufuna Ssabasumba omuggya ne babisopu abalala era ne yeeyama n'olukiiko lwe okutuukiriza obuvunaanyizibwa buno.

ABALALA ABALI KU LUKIIKO:

Mpanga agenda kumyukibwa Minisita w'abavubuka n'emizannyo, Henry Sekabembe Kiberu. 

Bammemba kuliko; Omukungu Josephine Nantege nga ye Muwandiisi, Ow'essaza Kyaddondo Kaggo Agnes Nakibirige Ssempa kubanga emikolo gigenda kubeera mu Kyadondo, Omukungu Roland Ssebuufu mu kiseera kino akulira Majestic Brands, Major Stanley Musaazi akulira eggye erikuuma Kabaka n'Omukungu David Ntege akulira ekitongole ky'abagenyi.