Muyige okuzza laavu obuggya mungiyumirwe
May 16, 2023
Ssenga Rose Mary Nalukwago, abuulirira abaagalana okuva mu Kikajjo Namasuba agamba nti okugezaako okufuna ezzadde ne mulemwa, kizibu ky’amaanyi mu baagalana nga kiva ku ggwe omuntu, n’abantu abalala ne batandika okukuteeka ku puleesa omuli ab’enganda zo, ab’enganda z’omwagalwa wo sinnakindi n’emikwano batandika okukuyisaamu emimwa ng’emirimu gy’omu kitanda bwe gyakulema.

NewVision Reporter
@NewVision

Kino tekittattanye bufumbo nneeyano anti buli omu ku mmwe abaagalana, omumwa aba agusonga mu munne nga bw’alemeddwa ensonga era bwe mutaba beegendereza,
obufumbo bwammwe buyinza okusattulukuka.
Abaffe, musobola kubeerawo mutya ne mukwatagana bulungi wadde omwana akyabuze?
Jalim Kiggundu okuva e Bwebajja, kkansala abudaabuda abafumbo agamba nti kikulu nnyo, abanoonyezza omwana n’abula obutessaako nsobi kuba gye bakoma
okwekubagiza ate gye bakoma okwennyamira mu mutima.
Nti era kikulu nnyo, okusigala n’essuubi mu bulamu. Ssenga Nalukwago
agamba nti buli omu alina okugumya munne ate ne mwekwasa Katonda kuba
y’agaba ezzadde.
l Temukendeeza mu kwegatta kuba n’okunyumya akaboozi, kubawa essanyu olwo ne situleesi y’obutazaala ne mugyerabira.
l Mukitwale nti ekyokubulwa omwana si kizibu, omukwano gusobole okubeera nga weeguli.
lBwe mukizuula nga tewali nsonga lwaki omwana tajja naye nga Mukama tannayagala kumubawa, ekisingako ebyomwana obutabirowoozaako buli lwe muba munyumya
akaboozi.
l Bwe kibeera nga kigaanidde ddala nga ssente weeziri waakiri mugezeeko okufuna engeri endala gye musobola okufuna omwana nga mukozesa tekinologiya eyajja.
l Temugifuula mboozi kubeerawo nga mwekubagiza. Mwogere ku pulaani z’omu maaso ezibawa essuubi n’essanyu, omukwano gusigale nga gutambula.
l Bwe mugezaako emyaka ne gyetooloola bwe muba temukolanga mbaga obutabeera nnyo mu birowoozo biri, musobola okutandika okugitegeka w’eggweera
ng’ebirowoozo byakyuka.
No Comment