BW'OZITUNUULIRA kungulu oyinza okulowooza nti ziggyibwa bweru wa ggwanga olw'endabika yaazo ennungi. Ggaadi zino nga ziba za byuma ebitangira ettaala ya bodaboda mu maaso n'emabega okwonooneka singa omuvuzi waayo aba akooneddwa oba engeri endala yonna ey'akabenje.
Asuman Kiyimba ng'ali mu mulimu guno okumala ekiseera mu Ndeeba annyonnyola engeri gy'agukolamu.
Omulimu guno gutambulira ku byuma n'omuliro ogubigonza nga bigenda okuwetebwa mu kukola ggaadi zino.
Mulimu eby'ekika kya piyipu enneetooloovu n'obutayimbwa obwa ‘square' nga byonna bya ffuuti 20.
Buli payipu ya ssente 12,000/- ate akatayimbwa aka ‘square' ka 11,000/- wabula nga byonna bigattibwa okukola ggaadi ekola mu maaso nga bwonna bukola ggaadi ezisukka mu kkumi.
Ebirala ebyetaagisa mu mulimu guno kuliko amanda agassibwa mu kyoto ekyokya obutayimbwa okusobola okubuweta, omuliro gwa ‘wolodingi' okubugatta ne langi esiigibwako.
Ey'emabega beeyambisa butayibwa bwa ‘square' ng'amabaati amagumu.
Emuwendo:
Ggaadi y'omu maaso emu ya 35,000/- okutuuka ku 50,000/- ate ey'emabega ya 40,000/- ku 50,000/- nga ggaadi zombiriri ziba zimalawo wakati wa ssente 90,000/- ne 100,000/-.
Akatale kaazo:
Zigulibwa aba bodaboda ba ssekinnoomu, abasuubuzi omuli n'abazitwala wabweru w'eggwanga.
(Binyonnyoddwa Asuman Kiyimba omu ku bali mu mulimu guno mu Ndeeba).