Vipers eyigga buwanguzi
Apr 28, 2021
OLUVANNYUMA lw’okukubwa Express 1-0 awaka n’okukola amaliri ne Wakiso Giants, batabani ba Fred Kajoba aba Vipers bakomawo leero mu nsiike ng’abaagala buwanguzi bwokka okussa URA FC ku puleesa.

NewVision Reporter
@NewVision
Bya ISMAIL MULANGWA
MYDA vs Vipers, Tororo 10:00
OLUVANNYUMA lw’okukubwa Express 1-0 awaka n’okukola amaliri ne Wakiso Giants, batabani ba Fred Kajoba aba Vipers bakomawo leero mu nsiike ng’abaagala buwanguzi bwokka okussa URA FC ku puleesa.
Battunka ne MYDA e Tororo mu mupiira gwe baagalamu obuwanguzi bwokka okulaba nga bagoba URA FC ku kikopo kya sizoni eno kuba ebasinga obubonero (4) bwokka. Vipers emaze emipiira ebiri nga tewangula ssaako n’obutateeba ggoolo.
MYDA gye baakyalira mu luzannya olwasooka e Kitende baagikuba ggoolo 7-0 ezaateebwa Yunus Sentamu, Paul Mucureezi, Ceasar Manzoki, Disan Galiwango ne Ibrahim Orit.
Kajoba yeeraliikiridde omuteebi wa MYDA Ibrahim Nsimbe ali ku ffoomu era aleze MYDA sizoni eno yaakateeba ggoolo (7) eza liigi.
MYDA tennawangulira mupiira waka gwonna nga yaakazannya mwenda mw’ekubiddwa omusanvu ssaako n’okukola amaliri (2), bali mu kifo kya 15 nga baakateebwa ggoolo 59.
So nga yo Vipers eri ku bubonero 43 nga bamaze emipiira ebiri nga tebawangula nga basemba kuwangula UPDF, Kitara ne Busoga United.
TTIIMU EZISUUBIRWA OKUTANDIKA
MYDA FC – Andrew Ssekandi, Dickson Outta, Faisal Muledhu, Amos Etojo, Derrick Basoga, Rashid Mpata, Mark Bassi, Eric Mutebi, Ibrahim Nsimbe, Peter Mutebi, Paul Musamali
Vipers SC – Fabien Mutombora, Paul Willa, Livingston Mulondo, Halid Lwaliwa, Aziz Kayondo, Bobosi Byaruganga, Karim Watambala, Ibrahim Orit, Yunus Ssentamu, Caesar Manzoki, Dissan Galiwango.
No Comment