Ow'emyaka 14 yeetisse eya 'King of kings'

May 10, 2021

MUSAAYIMUTO  w’essomero lya King of Kings Sharon Kanyiginya yafuuse ensonga mu liigi y’abakyala bwe yateebye ggoolo zombi nga bakuba Luwero Giants Queens WFC (2-0) ne beesogga ‘Quarter’.

NewVision Reporter
@NewVision

Mu Women Elite League

Asubo Gafford Ladies 1-1 Dynamic SS Jjeza

King of Kings 2-0 Luwero Giants Queens

Ku mulundi ogusookedde ddala King of Kings okwetaba mu liigi y’abakyala, Kanyiginya 14, omuyizi wa S.2 mu ddakiika eya 26 ne 90 yateebye ggoolo ezatuusizza ku ‘quarter’ nga bakyabuzaayo omupiira gumu okuwunzika egy’ebibinja.

Kings (2)

Kings (2)

Empaka zino eziyindira ku kisaawe kya FUFA Technical Center e Njeru, Kanyiginya ku wiikendi yategeezezza nga bw’ayagala gye bujja okuwangula ku kirabo ky’omuwala asinze okuteeba n’omutindo mu liigi y’abakyala.

“Ebawangula ebirabo okuva mu ‘USPA, Real Stars, FUFA n’ebirala bansomooza nnyo, gye bujja njagala kubiwangulako,” Kanyiginya bwe yategeezezza.

Kings (1)

Kings (1)

King of Kings be bakulembedde ekibinja A n’obubonero 6, enkya (Lwakubiri May 11, 2021) bazannya Dynamic SS Jjeza mu guggalawo egy’ekibinja.

Luwero Giants abali mu kyokubiri n’obubonero 3, enkya (Lwakubiri)bazannya Asubo Gafford.

Related Articles

No Comment


(adsbygoogle = window.adsbygoogle || []).push({});