Kajoba agasimbaganye ne Ssimbwa

May 11, 2021

EKIBANYI kyakugwa n’amenvu URA FC ekulembedde bw’aneeba akyalira Vipers abali mu kyokubiri ng’ekyawula bano ke kabonero akamu kwokka mu liigi ya babinywera eya Startimes Uganda Premier League enkya ku Lwokusatu. 

NewVision Reporter
@NewVision

Bya ISMAIL MULANGWA 

Airtel Kitara-BUL 10:00 

Kyetume-Express 10:00 

Police-Kampala City 10:00 

Vipers-URA SC 10:00 

EKIBANYI kyakugwa n’amenvu URA FC ekulembedde bw’aneeba akyalira Vipers abali mu kyokubiri ng’ekyawula bano ke kabonero akamu kwokka mu liigi ya babinywera eya Startimes Uganda Premier League enkya ku Lwokusatu. 

Fred Kajoba ajja mu nsiike eno ng’ali ku puleesa kuba URA gy’azannya akimanyi bulungi nti tegikubangako nga ne sizoni ewedde yabatigomya awaka ne mu bugenyi. 

Omupiira guno mukulu nnyo eri Sam Ssimbwa owa URA akakasizza bakamaabe nti ekikopo kya sizoni eno akyagala bubi nnyo kuba bukya sizoni etandika yaakakubwaamu emipiira ebiri gyokka egya Express so nga yo Vipers yaakakubwa esatu. 

Mu luzannya olwasooka e Ndejje, URA yamegga Vipers ggoolo 2-1 era Kajoba yeesize Yunus Sentamu ali ku ffoomu ennungi kuba kumpi buli mupiira ezze ateeba ggoolo ne Ceaser Manzoki, okuggya ekikwa ku URA so nga ye Ssimbwa asibidde ku Shafiq Kagimu. 

Mipiira ebiri Vipers gy’esembye okuzannyira awaka ebadde tekola bulungi nga ekubiddwa Express n’amaliri ga Wakiso Giants era URA ekola bulungi nnyo ku bugenyi okusinga ewaka. 

URA y’ekulembedde liigi n’obubonero 50 so nga yo Vipers eri ku bubonero 49.  

 

Related Articles

No Comment


(adsbygoogle = window.adsbygoogle || []).push({});