Bya Meddie Musisi
Pulogulaamu y’okusaala Iddi mu mizigiti egy’enjawulo:
Ku muzikiti e Kampala mukadde, Mufti Sheikh Shaban Ramadhan Mubajje yagenda okukulemberamu okusaala kuno ku ssaawa 2:00 ez’oku makya.
Omumyuka wa Mufti Sheikh Mohammed Waiswa yagambye nti bagenda kufuba okukwata obudde.
Ku muzikiti e Kibuli Dr. Abdul Walusimbi y’agenda okukulemberamu okusaala kuno okugenda okwetabwako ne jjajja y'Obusiraamu Dr. Kassim Nakibinge.
Mu kisaawe e Nakivubo, Imam Ummah Sheikh Mwanje y’agenda okukulemberamu Eswala eno ku ssaawa 2:00 ez'oku makya.
Ku muzikiti gwa Masijidi Salama ogumanyiddwa nga ogwa Matovu mu Ndeeba, abadde Supreme Mufti Sheikh Siliman Kasule Ndirangwa y’agenda okusaaza ku ssaawa 2:00 ez'oku makya.
Ku muzikiti gwa Nsambu e Makindye, Sheikh Ahmed Galiwango yagenda okusaaza ku ssaawa bbiri ez’oku makya.
Ku Masjid Qoba e gangu Sheikh Ibrahim Kinyenya y’agenda okukulemberamu okusaala kuno ku ssaawa 2:00 ez'oku makya.