Engeri gy'osobola okusimbamu emmwaanyi n'ozifunamu ekiwera
May 14, 2021
EMMWAANYI kye kirime ekisinga okuba eky’omugaso mu by’enfuna by’eggwanga era kuva dda nga Uganda kye kirime ky’esinga okutunda ebweru w’eggwanga.

NewVision Reporter
@NewVision
Bya EMMANUEL SSEKAGGO
EMMWAANYI kye kirime ekisinga okuba eky’omugaso mu by’enfuna by’eggwanga era kuva dda nga Uganda kye kirime ky’esinga okutunda ebweru w’eggwanga.
Ekirungi ekiri ku mmwaanyi ekitali ku birime birala nkiri nti emmwaanyi omuntu agisimba mulundi gumu nga ne bwakaddiwa nga takyalina maanyi gazirimamu buli kiseera asobola okusigala ng’anoga emmwanyi okusobola okweyimirizaawo.
Godfrey Kayumba omulimu w’emmwaanyi okuva e Busunju awadde abalimi amagezi ku ngeri gye balina okulabiriramu emmwaanyi zaabwe basobole okuzifunamu.
ENSIMBA Y’EMMWAANYI EY’OMULEMBE
Okusinziira ku kunoonyereza kwenkoze mu kulima emmwaanyi nakizuula nti amabanga getuwa emmwaanyi zaffe oluusi gayitirira.
Bw’oba oyagala okufuna ekiwera emmwaanyi zisimbe fuuti 5 ku 10 okuva ku kikolo ekimu okutuuka ku kirala. Kino kijja kukuyamba okufuna ekiwera mu nnimiro yo.
Bw’omala okusima ekinnya osobola okuteekamu ebigimusa okuli obusa oba kalimbwe w’enkoko, olina okubireka ne biwola era nga byandimaze omwezi gumu olwo n’olyoka osimba emmwaanyi. Wabula bw’oteekamu endokwa z’emmwanyi nga kalimbwe takaze ayinza okugyokya.
EMMWAANYI EKIKA KYA ‘CUT’ ZEZISINGA OKUKULA AMANGU
Kayumba agamba: Nze nsimba emmwaanyi ekika kya “cut” nga zino ekirungi kyenazizuulamu okusinga ku kya elite kwe kuba nti zo zikula mangu era nga mu bbanga lya mwaka gumu gwokka ekika kino ziba zitandika okumulisa ekiyamba omulimi okutandika okufuna ssente mu bwangu.
Ekirala ekirungi ekiri ku kika kya “cut” kwe kuba nti emmwaanyi ekika kino ziteekako empeke ennene ate nga empeke gy’ekoma okuba ennene n’omuwula gye gukoma okuba omunene olwo nga n’obuzito bweyongera ekigiwa enkizo ku katale okusinga ekika ky’emmwaanyi ekirala kyonna.
No Comment