Eza Basketball ziri mu nsiike e Mukono
May 15, 2021
LIIGI ya Basketball enkulu eyingidde wiikendi eyookutaano nga buli ttiimu erwana okukung’aanya obubonero obunaagiyamba okumalira mu ttiimu 12 ezinaazannya ‘Play offs’ za sizoni eno.

NewVision Reporter
@NewVision
Leero (Lwamukaaga) mu Liigi ya Basketball enkulu
Angels – KCCA Leopards
Betway Power – UPDF Tomahawks
JKL Lady Dolphins – KIU Rangers
Nam Blazers – KIU Titans
(Enkya)Ssande
Angels – Nkumba Lady Marines
JKL Dolphins – Ndejje Angels
Nabisunsa – KIU Rangers
KIU Titans – UPDF Tomahawks
Okwawukanako ne sizoni eziwedde, enzannya z’ebibinja zibadde zizannyibwa ku mutendera gwa ‘Nkyalira, nkukyalire’. Omulundi guno olwa Covid-19, ttiimu zaakwezannya omulundi gumu.
Ku ttiimu z’abasajja 10 ezeetabyemu sizoni eno, ezikulembera ekibinja 8 ze zigenda okuzannya ‘Play offs’ oba ‘Quarter’. Ez’abawala ziri 8 nga kuzino 4 zokka ze zigenda okuzannya ‘Play offs’ oba Semi.
Leero (Lwomukaaga May 15, 2021) ensiike zonna zaakuzannyirwa ku kisaawe kya Uganda Christian University (UCU) e Mukono ate enkya (Ssande) bazannyire ku kisaawe kya Kampala International University (KIU).
City Oilers abaakawangula liigi emirundi 7 egy’omuddiring’anwa be bakulembedde ekimeeza ky’abasajja n’obubonero 10 mu nsiike 5. Ate JKL Lady Dolphins abalina ekikopo kya sizoni ewedde, be bakulembedde ekimeeza ky’abakazi n’obubonero 8 mu nsiike 8.
No Comment