Ssentebe nakulyamu olukwe naye bansonyiwe.....!

May 15, 2021

KANSALA ku ssaawa envannyuma ayatudde nga bwe yalwanyisa ennyo Ssentebe amusuuze omugaati bwe yamuwangulira ne mu kkooti n'amubuukako bukumbu.

NewVision Reporter
@NewVision

Rashida Nanziri Salasala munna DP yekazizza n'afukamira mu maaso g'owa NRM Richard Kyabaggu Kalyamaggwa n'amwetondera n'okumwebaza obutamusaako mpiiga y'obutamuwagira.

Salasala ayatudde nti y'ayeekera Kyabaggu mu kalulu ka 2016 n'amuwaako n'obujulizi mu kkooti ez'enfunda ebbiti nti yabba obululu bwa Emmanuel Musoke owa DP munne.

"Nnewuunya era nnebaza Kyabaggu nti teyampalana ate n'ansembezza ku mmeeza ng'ampa obwaminisita bw'obuwanika ekitasangika mu balala", Salasala bw'akaatirizza.

Agambye nti wadde naye nga Salasala y'agudde mu kalulu akiiriza nti mumativu okuggwa ne Kyabaggu kuba yamuzuulamu omutima ogutawoolera ggwanga.

Kino kyasanyudde abakiise n'abakozi ba Gavumenti ne bamukubira olube ng'afukamidde enfunda bbiri mu maaso ga Kyabaggu.

Related Articles

No Comment


(adsbygoogle = window.adsbygoogle || []).push({});