Basse omuntu ne bamusalako ebitundu by'ekyama e Kamwokya
May 17, 2021
ABATUUZE be Kamwokya mu zooni ya Old Kira Road okuliraana ekitebe kya Nup baguddemu ekikangabwa bwe basanze omuntu ng’attiddwa mu bukambwe abamusse ne bamusalamu ebitundu bye ebyekyama.

NewVision Reporter
@NewVision
ABATUUZE be Kamwokya mu zooni ya Old Kira Road okuliraana ekitebe kya Nup baguddemu ekikangabwa bwe basanze omuntu ng’attiddwa mu bukambwe abamusse ne bamusalamu ebitundu bye ebyekyama.
Okusinzira ku batuuze ettemu lino luabaddewo ku saawa 9:00 ezekiro ekyakeesezza ku Ssande.Omulambo guno gwasangiddwa nga gusibiddwa emiguwa ku mikono kyokka nga gugiddwamu engoye nga zisuliddwa ku bbali ekyalaze nti abamusse basoose ku mugyamu ngoye nga tebanatuuka ku musalako bitundu bye byakyama nakumutta.
Rose Namulemezi omu ku batuuze yagambye nti yawulidde emiranga gy’omuntu alaajana okumusonyiwa nga yegayirira ababadde bamukutte ng’abategeeza nga bwatali mubbi.Ettemu lino welyakoleddwa wesudde mita nga 100 okuva nawali ekitebe kya Nup era abasing ku batuuze abazze okulaba omulambo guno bakubaganye empaawa ng’abamu bagamba nti ettemu lyandibeeramu ebyobufuzi abalala nti ayinza okubanga yakwatiddwa mu bubbi.
Poliisi okuva eKira Road yatemezebwaako n'esobola okutuuka neyekebejja omulambo olwa neggwa ne ku bizibiti okwabadde akambe abatemu kebakozesezza ,esweeta egambibwa okuba eyekitongole ekikuumi n'ebilala.
Yatiise omulambo ku mmotoka negutwala emulago okugwekebejja.
James Kakooza kansala wa Kamwokya ii yategeezezza nti obubbi mu kitundu bususse nga bantu babayingiroira obudde bukyali, yagambye nti omuvubuka eyattiddwa babadde bamumanyiko linnya limu lya Odongo ng’abeera Bukoto navumirira okutwalira amateeka ,mu ngalo.
Amyuka omwogezi wa poliisi mu Kampala nemiriraano Luke Oweyesigyire yagambye nti bakukwata ababadde emabega wettemu lino
No Comment