Mbappe ateekateeka kuzza buggya ndagaano ye ne PSG

Feb 08, 2021

Ssita wa PSG, Kylian Mbappe ali ku ndeboolebo ya kuzza buggya ndagaano ye ne ttiimu eno kyokka mwakussibwamu akawaayiro akamukkiriza okwegatta ku Real Madrid singa eneevaayo n’emwogereza.

By Bukedde Omusunsuzi
Journalist @NewVision

Endagaano y’Omufalansa ono mu PSG eggwaako mwaka gujja era agava e Bufalansa galaga nti waakussa omukono ku ndagaano empya.

Mbappe yali waakwegatta ku Real mu katale ka June omwaka oguwedde kyokka olw’obulwadde bwa corona obwataataaganya ebyenfuna bya Real Madrid, ne balemwa okumukansa.

Kigambibwa nti Real amabanja gagiri mu bulago nga mu kiseera kino, ebanjibwa obukadde bwa pawundi obuli eyo mu 527 ekirese okugenda kwa Mbappe mu ttiimu eyo mu katyabaga.

Ensonda mu PSG zaategeezezza nti Mbappe ow’emyaka 22, okussa omukono ku ndagaano empya kyavudde ku muzannyi munne Neymar kusikiriza asigale.

Eyali omutendesi wa Spurs, Mauricio Pochettino y’atendeka PSG mu kaseera kano era yategeezezza nti musanyufu n’abazannyi b’alina mu kaseera kano.

PSG yaakusatu mu liigi ya Bufalansa nga mu mipiira 24 gye yaakazannya, erinamu obubonero 51. Lille y’ekulembedde ku bubonero 54 ate Lyon eri ku 52.

Related Articles

No Comment


(adsbygoogle = window.adsbygoogle || []).push({});