Guardiola ayagala abagagga bamugulire Lukaku zaabike emipiira
Feb 08, 2021
MU kaweefube w’okulaba nti basigala baamaanyi, omutendesi wa Man City Pep Guardiola asabye bakama be bamugulire Romelu Lukaku mu katale akaddako.

NewVision Reporter
@NewVision
Guardiola agamba ayagala Lukaku adde mu kifo kya Sergio Aguero akuliridde. Aguero amaze emyaka 10 ku Etihad Stadium.
Lukaku enzaalwa y’e Belgium azannyira Inter Milan oluvannyuma lw’okusenzebwa olweyo ng’ava mu ManU. Sizoni eno, yaakateeba ggoolo 20 mu mpaka ez’enjawulo mu mujoozi gwa Inter.
Man City yasooka kwagala Erling Haaland ng’ono Borussia Dortmund emwagalamu obukadde bwa pawundi 100 wabula kigambibwa nti omusaala gwa pawundi 400,000 buli wiiki gwe gwabaggyamu.
Related Articles
No Comment