Abavubuka temwesamba nsonga za Bwakabaka - Katikkiro Mayiga
Feb 17, 2021
KATIKKIRO wa Buganda Charles Peter Mayiga agambye nti kikulu abantu obuteesamba nsonga z’Obwakabaka kubanga mu kwenyigira mu kubuzimba mwe muyitira emikisa egibayamba okutuuka ku bikulu mu bulamu.

NewVision Reporter
@NewVision
KATIKKIRO wa Buganda Charles Peter Mayiga agambye nti kikulu abantu obuteesamba nsonga z’Obwakabaka kubanga mu kwenyigira mu kubuzimba mwe muyitira emikisa egibayamba okutuuka ku bikulu mu bulamu.
Bino yabyogeredde Bulange - Mmengo ku Lwokutaano lwa wiiki ewedde bwe yabadde asisinkanye abavubuka abaayitirako mu kibiina ky’abavubuka ba Buganda Ttabamiruka abeetabye mu kulonda okwakaggwa ne bawangula ebifo by’obukulembeze ku mitendera egy’enjawulo n’abakubiriza okusigala nga beenyigira mu nsonga z’okukulaakulanya Obwakabaka.
“Kikulu abantu obuteesamba by’e Mmengo kubanga ogwo gwe mukisa gwabwe. Obuwanguzi bulijjo obutandikira wammwe mu maka n’emikisa gitandikira ku bazadde ne gibuna era ne gikugenderako,” Mayiga bwe yakubirizza.
Katikkiro yawadde abavubuka amagezi okukkiriza okuluhhamizibwa n’okutendekebwa nga buli lunaku basaanye okubeerako kye bayiga, lwe banaagundiira mu bukulembeze.
“Buli lunaku nfuba okubaako ekintu ekipya kye njiga ate ku buli muntu. Buli Lwakusatu nsoma mutoowange Micheal Ssebbowa Mukasa mu Bukedde by’awandiika ng’atuyigiriza okwerwanako, sisobola kusubwa mboozi ye (eyitibwa Nsi Kuyiiya).
Mujje e Mmengo tubabuulire eby’okukola, abakulu bano (baminisita) balina obumanyirivu bungi, temubeesamba,” Mayiga bwe yawabudde
Omukolo gwetabiddwaako baminisita okuli; Henry Ssekabembe Kiberu ne David Kyewalabye Male.
Ku lwa banne Allan Mayanja Ssebunya (Nakaseke Central), yeeyamye nti bagenda kuteeka essira ku nfuga ya FEDERO eyayaanirwa okusobola okutuusa enkulaakulana mu Uganda n’ensonga endala eza Buganda.
Abalala abeetabye ku mukolo guno kuliko; Robert Ssekitooleko (Bamunanika),Ying. Richard Ssebamala (Bukoto Central),Teddy Nambooze (mukazi Mpigi) ne Richard Lumu Sserunkuma (Mityana South), Rashidah Namboowa (ssentebe wa disitulikiti y’e Butambala) n’abalala abali ku bifo eby’enjawulo.
No Comment