Etteeka eppya mu byenjigiriza lyogezza bannabyanjigiriza obwama

Mar 29, 2021

GAVUMENTI ng’eyita mu Minisita w’ebyenjigiriza eby’amatendekero aga waggulu, Dr. JC. Muyingo ayanjudde etteeka eppya omuli: buli musomesa okuva ku nnasale okutuuka ku siniya okuba ku ddaala lya diguli n’abasomesa okusasulwa omusaala gwe gumu ku madaala gonna ekisanyudde abamu ate abalala ne balikolokota.

NewVision Reporter
@NewVision

Dr. JC Muyingo yagambye nti etteeka lino lyayisibwa kabineeti mu 2019 kyokka ekirwadde kya Covid-19 ne kigootaanyaamu mu nteekateeka kyokka lyakutandika okuteekebwa mu nkola essaawa yonna.

‘‘Ensonga enkulu mu tteeka lino kwe kutumbula omutindo gw’omusomesa kwe tunaasinziira okulinnyisa omutindo gw’ebyenjigiriza. Twagala okuzzaayo abasomesa basome bafune diguli era kye kisaanyizo ekisooka olwo tumuwe omusaala nga gugya mu buyigirize obwo.’’ Dr. Muyingo bwe yagambye.

Yayongeddeko nti eky’omusaala waliwo akakiiko aka ‘public service’ akakikolako era twakkaanyizza nti omusaala gujja kuba gwegumu okuva wansi okutuuka ku ssekendule kubanga bonna obuyigirize bunaaba bwe bumu.

N’agamba nti obusomesa bufiiriddwa abayizi abagezi bangi olw’ensonga nti babadde tebazziddwaamu maanyi nga kati kye batandise okukolako.

Related Articles

No Comment

(adsbygoogle = window.adsbygoogle || []).push({});