Nkomawo okwesimbawo ekisanja ekyokusatu - Magogo

Apr 06, 2021

PULEZIDENTI wa FUFA Ying.  Moses Magogo alangiridde nga bwagenda okwesimbawo mu kisanja ekyokusatu mu August omwaka guno. 

NewVision Reporter
@NewVision

PULEZIDENTI wa FUFA Ying.  Moses Magogo alangiridde nga bwagenda okwesimbawo mu kisanja ekyokusatu mu August omwaka guno. 

Bino abyogeredde ku wooteeri ya Jevine Hotel e Lubaga, Kampala ku mukolo gw’abannamawulire n’abategeeza nga bwagenda okudda mu ntebe. 

“ Wadde nga ndi mu palamenti, kino kigenda ku nsobozesa okuweereza omupiira kuba ensonga zaffe zijja  kunyanguyira okuzanja mu maaso ga babaka bannange,” Magogo bwe yagambye. 

Asabye buli muntu yenna ayagala okwesimbawo mu kifo ky’obwapulezidenti wa FUFA ajje agezese emikisa gye.  

Magogo abadde mu ntebe okuva 2013 era giweze emyaka munaana bukya Dr. Lawrence Mulindwa alekulira kuba yagaana okwesimbawo ekisanja ekyokusatu. 

Ebisanja ebibiri byafuze abadde awangula nga tavuganyiziddwa era Mujib Kasule, omubaka wa Kampala Central Muhammad Nsereko, Robert Kabushenga n'omubaka Allan Ssewanyana be baali baagala entebe mu kisanja ekiwedde wabula n’abawangula. 

Okulonda kw’omwaka guno kwa kubeerawo nga August .

 

 

Related Articles

No Comment


(adsbygoogle = window.adsbygoogle || []).push({});