Maama wa bbebi ow’emyezi ebiri apooca. Ali ku kitanda mu ddwaaliro ly’e Kamuli-Mulago ekkulu oluvannyuma lwa bba okumutema ng’amulanga obutamuwa mazzi ga kunaaba!
Kigambibwa nti Aggrey Kagoda yasabye Brenda Nairuba amazzi g’okunaaba. Yabadde aliko emirimu emirala gye yabadde akola n’alwamu okugamuwa, obusungu ne bumulinnya n’akwata ejjambiya n’amutema ku mutwe n’afuuwa omusaayi.
Yamulese ataawa n’adduka nga kati poliisi ekyamuyigga. Nairuba yalayizza enduulu ez’aleese baliraanwa abaamusanze mu kitaba ky’omusaayi ng’ataawa ne bamuddusa mu ddwaaliro ly’e Kamuli-Mulago.
Brenda Nairuba Ng’apooca Mu Ddwaaliro Ly’e Kamuli Mulago.
Bino byabadde ku kyalo Buwanume mu munisipaali y’e Kamuli mu distulikiti y’e Kamuli ku Lwomukaaga, Kagoda bwe yalemeddwa okukuuma obusungu n’asalawo ateme omukazi olw’amazzi ge yabadde asobola okwesenera.
Faizo Mwondha, ono nga ye Kojja w’omulwadde, ategeezezza Bukedde nti omulwadde tasobola kwogera kigambo okuggyako okuwuuna obuwuunyi.
Omwogezi wa Poliisi mu Busoga North, Michael Kasadha, avumiridde ekikolwa kino n’asaba abakulembeze bongere okuba obulindaala ku bikolwa by’obugulumbo bw’amaka.
Yanenyezza n’Abataka okulemwa okuzingiza omutemu n’atuuka okw’emulula, n’asaba abakulembeze basitukirengamu nga bawulidde ettemu nga lino , nti kw’ono Abataka, mu kifo eky’okuyoolayoola omulwadde bamudduse mu ddwaaliro ate b’alinze Poliisi atuuke ng’omusaayi gumuggwamu.