"Omusajja bw'angamba tuyingire obufumbo asooka kumpa bye njagala byonna"
Mar 31, 2025
"Abantu tebakimanyi nti layisi agula buwanana"

NewVision Reporter
@NewVision
Yiii... kale walungiwa! Kiki ekikugaana okwesimbawo ku bwannalulungi?
Ha ha ha... wabula tonsesa.
Ndaba tolina we wakyama..
Ekyo nkyebaliza Mukama.
Tubuulire ku mannya go?
Nze Shamillah Murungi.
Osula wa eyo abantu gye beekubira obwama nga bwe bakweyisa nnalulungi..
Nsula Lubaga naye erya nnalulungi si lyange.
Era eky’okutunda ebizigo kyakusaana anti otunda bwe balaba ku ggwe abitunda bw’ofaanana...
Era nkumazeemu myaka ena ate nga bankozesa bukozesa.
Mbu olwo tofunanga kapito atandika dduuka liryo?
Omulimu gw’okutunda ebizigo ebinyiriza abantu, olina okubeera ne kapito awera waakiri obukadde butaano, ezitali nnyangu kukung'aanya n’ozifuna mangu.
Naye ndowooza olina ebirungi by’ogufuniddemu?
Omulimu guno gunnyumira kuba njagala nnyo okwogera n’abantu. Ekirala njize n’engeri gye bakwatamu abantu, nfunyeemu n’emikwano.
Ky’ogamba temuli bikusumbuwa
Abamu ku bakisitoma baagala nnyo ebintu ebya layisi nga balinga abatakimanyi nti layisi agula buwanana. Ebintu byaffe, tutunda oligino era n’ebbeeyi eri wagguluko kuba tutunda biri ku mutindo.
Simanyi wasoma bwa ‘customer care’?
Nasoma Procurement and Logistics e Fortportal.
Okozesa ki ku lususu?
Nkozesa nnyo ebizigo ebiva e Paris. Buli lunaku nnina okulongoosa ffeesi yange nga nkozesa ebigenderako eby’enjawulo. Kwe nnyongereza okunywa amazzi.
Eby’okufumbirwa obirowoozaako?
Sinnabifuna mu ndowooza kuba njagala kusooka kubaako na bintu byange ku bwange. Ekirungi obufumbo tebuggwaawo.
Singa omusajja ajja n’akusuubiza okukuwa buli ky’oyagala, oyingire obufumbo mwaka guno, okkiriza?
Ne bw’ang'amba nti tugende enkya, nzikiriza naye asooka kumpa bye njagala byonna. Teri muwala atayagala bulamu bwakaserengeto.
Olisuubira kuzaala abaana bameka?
Nalina ekirooto nti bwe ndiba nkuze, nzaale abaana bana naye ku bye ndaba kati, ekinene ennyo njakuzaala babiri oba omu. Ekikulu kubeerayo n’ampita maama.
No Comment