Omuzadde gwe bawadde bbasale atulise n’akaaba ng’agamba talina byetaago n’abaana alina bangi

Feb 05, 2024

Olwaleero abayizi okwetoloola eggwanga batandise olusoma lwabwe olusooka mu  2024.

NewVision Reporter
@NewVision

Bya Wasswa b. Ssentongo

Olwaleero abayizi okwetoloola eggwanga batandise olusoma lwabwe olusooka mu  2024.

Amasomero ag'enjawulo mu ggombolola y'e Gombe mu Nansana munisipaali, abayizi tebajjumbidde lusoma olusooka nga waliwo n'abazadde abakaabye n’amaziga nga beebuuza wa gye bagenda okugula ebikozesebwa kuba babiseera.

Ku ssomero lya Lwadda C.O.U Secondary School e Matugga, abayizi tebajjumbidde bulungi olusoma lwabwe wabula ng' eno waliwo omuzadde Alice Nakitende omutuuze w'e Kirwanira e Matugga abadde azze okuwandiisa omwana we ku ssomero.

Nakitende atuuse nga fiizi wa mitwalo 200,000/- kyokka ne yeegayirira abasomesa bamuwe bbasale  kye baamukoledde kyokka oluvannyuma atulise n'akaaba  ng' agamba nti tamanyi wa gy'agenda kuggya ssente endala kuba alina abaana bangi ate ebyetaagisibwa bingi.

Abayizi Mu Ssomero Lya Gavumenti Erya Lwadda E Matugga Nga Bali Mu Kibiina Ng'entebe Ezimu Tekuli Bayizi.

Abayizi Mu Ssomero Lya Gavumenti Erya Lwadda E Matugga Nga Bali Mu Kibiina Ng'entebe Ezimu Tekuli Bayizi.

Yannyonnyodde nti tamanyi wa gy'agenda kuggya ssente kuba n'ekifo weyali akolera baamugobawo dda nga kati akola gwa kusiika muwogo kyokka tavaamu ssente zisobola kulabirira abaana ate nga bba yamuddukako dda n'asigaza abaana.

Ono yagambye nti emisolo mingi nnyo ku buli kintu ekikaluubirizza abantu abamu ne balemesebwa okuweerera abaana.

Omukulu we ssomero lino James Bazanye Wasswa agambye nti abazadde baleke kukaluubirizibwa wabula baleete abaana baabwe basobole okusoma.

Ku ssomero lya Gavumenti erya Lwadda C.O.U Primary School e Matugga ku bayizi 1,300 abayizi 300 be batandise ng' ebibina ebisinga bibadde bikalu ng' akulira essomero lino Damalie Nabutto asabye abazade okusindika abaana baabwe nga babawadde ebikozesebwa era nti basuubira nti abaana abasinga baakutandika Lwokusatu oba mu Mmande.

Era ku ssomero lya Brethren Memorial School e Matugga Kiryagonja  abayizi babadde bakyali batono nga dayirekita w'essomero lino, Edward Tebandeke Kateregga agambye nti abazadde baleke kutuula, baleete abaana babasomese nga fiizi bakutegeeragana ku nsasula y’abaana.

 

Related Articles

No Comment


(adsbygoogle = window.adsbygoogle || []).push({});