Abalonzi obukadde 4 basattira mu Amerika
Oct 18, 2020
OKULONDA kwa Amerika kuli mu katyabaga bannassaayansi bwe bagudde mu lukwe lw’amawanga bwe batalima kambugu nga gakulembeddwa Russia ne China okusannyalaza kompyuta ku lunaku lw’okulonda ekiyinza okulemesa abalonzi obukadde obusoba buna okukwetabamu.

NewVision Reporter
@NewVision
OKULONDA kwa Amerika kuli mu katyabaga bannassaayansi bwe bagudde mu lukwe lw’amawanga bwe batalima kambugu nga gakulembeddwa Russia ne China okusannyalaza kompyuta ku lunaku lw’okulonda ekiyinza okulemesa abalonzi obukadde obusoba buna okukwetabamu.
Biden1
Ekitongole kya US Cyber Command ekirondoola emisango egizzibwa ku kompyuta nga bakozesa yintaneeti kyazudde ekitongole ky’abatujju abataagaliza Amerika ekimanyiddwa nga Trickbot bwe kyamaze enteekateeka z’okusannyalaza kompyuta z’abalonzi abasoba mu kakadde kamu mu Amerika baleme kulonda.
Amerika erimu abalonzi abasukka mu bukadde 219 ku bantu obukadde 328 okusinziira ku kitongole kya United States Census Bureau Eurosta ekikola ku by’okubala abantu n’ebyabwe. Trickbot kirina buli kika kya biwuka ebirya ebintu ebiterekeddwa mu kompyuta nga bw’ogiggulawo yeggyako ate bw’ebeera teyeggyeeko ekuleetera birala by’otagisabye.
Biden
Trickbot kisindikira kompyuta z’abalonzi ebiwuka omuli ebya ‘viruses’ nga bw’olaba zino ezireeta ssennyiga wa COVID-19 kyokka ku luno nga si ssennyiga wabula ebirwadde ebirala ebisannyalaza kompyuta.
Obuwuka obuyitibwa ‘spyware’ nga buno bwe bakusindikira ku kompyuta bugirya nga bwe buggyamu ‘data’ oba ebikwata ku nnannyiniyo era bye buggyeemu ne bibusindikira ababutumye ekibayamba n’okumanya omuntu gw’ogenda okulonda nga kiva mu kugattagatta ani gw’oyogerako ennyo ng’oli ku kompyuta yo ne by’omwogerako.
Tekinnazuulibwa ani ku beesimbyewo ku bwapulezidenti bwa Amerika okuli Donald Trump owa Republican ne Joe Biden owa DP abatujju bano gwe baagala awangule.
Wabula okusinziira ku mbeera eriwo, China tekolagana na Trump azze agissaako emisolo ku bintu ebingi by’etunda mu Amerika ng’ayagala kugiremesa.
Russia ekolagana ne Trump mu nkukutu era ne mu kulonda kwa 2016 Trump we yeesimbirawo ne Hilary Clinton eyali owa DP, gwe yawagira ng’eketta ebyomunda ebikwata ku Clinton n’ebiwa Trump ekyamuyamba okumanya gw’avuganya naye bwe yali ayimiridde.
Omusango guno guzze gunoonyerezebwako ekitongole kya FBI ekiketta munda mu Amerika ne kizuulwa oluvanyuma lwa bannansi bangi okunyiga olw’eyesimbyewo okusaba eggwanga ery’ebweru okumuyamba ekiyinza okulireetera okusalirawo Amerika ku bigenda mu maaso.
Ku luno, abatunuulizi bagamba nti kiyinza okuba ng’amawanga gombi, China ne Russia buli limu lifuba kulemesa ludda lwe litawagira ng’anaasinga amaanyi y’anaasinga okulemesa abalonzi abangi mu kulonda okugenda okubaawo nga November 3, 2020.
Waliwo obuwuka obulala obuyitibwa ‘Ransomware.’ Buno babukusindikira ku kompyuta yo nga bulinga obubaka. Buyinza okubeera mu mesegi bw’ogiggula obuwuka obujjiddemu ne bisaasaanira kompyuta yo olwo ababusindise ne bakusaba ssente okubuggyamu era bw’otazisindika kompyutayo ebeera efudde.
Abatemu balinze kukikola ku lunaku lwa kulonda lwennyini kyokka ng’essaawa eno enteekateeka zaabwe zaggwa dda ne kompyuta baazitegeka dda ez’okusindikamu ebiwuka bikattira. Kyokka ebitongole bya Amerika ebikessi ekya FBI ne CIA ekiketta ebweru waayo bikola butaweera okulemesa enteekateeka y’abatujju bano era bigenda mu maaso okugumya abantu okuba abagumu.
Olwa COVID-19 elemesa abantu okukungaana, okulonda mu Amerika kugenda kubeera kwa ssayaansi ng’omuntu abeera waka n’akozesa kompyuta ye oba ssimu n’alonda gw’ayagala n’asindika akalulu ke eri abakola ku by’okulonda ne kabalibwa.
Ekiwuka bwe kirya kompyuta yo, omulonzi aba tajja kulonda.
EBIKWATA KU UNITED
STATES CYBER COMMAND
1. Ky’ekisinga obunene mu nsi yonna mu kuketta ebikolebwa ku kompyuta ne yintaneeti
2. Kirina amatabi 11 agalondoola ebivve ebikolebwa abantu ku yintaneeti ne kompyuta mu nsi yonna.
3. Kiri wansi wa minisitule wa byakwerinda bya Amerika.
4. Kikyankalanya bbomu, ennyonyi, emizinga, ebikompola, mizayiro n’ebyokulwanyisa by’omulabe ebirala Amerika b’eba erwana abo b’erwana nabo ebuntu byabwe ne babicankalanya.
5. Kikolagana n’ekitongole kya Amerika ekya NASA ekikola ku byo mu bwengula n’ebizungirizi okulagirira ebizungirizi ku misoni z’obwengula, okutaataaganya ebizungirizi n’ebyombo by’amawanga agatalima kambugu ne Amerika bwe kizuulwa nga misoni eyo ekontana n’ebigendererwa bya Amerika.
6. Ekitebe kyakyo ekikulu kiri mu kibuga Fort Meade mu ssaza lya Maryland mu Amerika.
7. Kyatandika June 23, 2009 ku biragiro bya Pulezidenti Obama eyaliko mu kiseera ekyo.
8. Omu ku bakamanda baakyo; Lt. Gen. Charles L. Moore Jr. wa ggye lya Amerika eryo mu bbanga.
No Comment