Abaawanguddwa mu kamyufu ka NRM e Mubende bawanda muliro
Oct 27, 2020
Abaawanguddwa mu kamyuka ka NRM e Mubende bawanda muliro ng'abamu bategeezezza nga bwe tajja kuddamu kuwagira NRM.
By Bukedde Omusunsuzi
Journalist @NewVision
SSENTEBE wa disitulikiti y’e Mubende, Francis Kibuuka Amooti eyawanguddwa
Michael Ntambi mu kamyufu k’ekibiina ku kifo kya ssentebe wa disitulikiti
avudde mu mbeera n’ategeeza nga bw’atakyayinza kuwagira kibiina
kya NRM.
Amooti eyeesimbyewo nga talina kibiina ku kifo ky’omubaka wa palamenti owa munisipaali y’e Mubende, yalumirizza Gen. Salim Saleh nti ye yawagira ababadde bamuvuganya okumuggya mu kifo.
Bino yabyogeredde mu lukiiko olwategekeddwa eyali minisita, Kabakumba Matsiko okutabaganya aba NRM e Mubende kyokka ye Amooti yagambye nti tajja kuwanduka mu kalulu kubanga yakolwako effujjo.
Kibuuka agamba nti mu kiseera kino waliwo abaagala okumutta
nga bamuyigga n’emmundu z’agamba nti ziva mu gavumenti kyokka nga NRM
gy’abadde awagira y’emuyigganya.
Abalala abaawangulwa mu kamyufu k’ekibiina ku bifo bya palamenti ne gavumenti ez’ebitundu batubuulidde ng’obuwagizi bwa pulezidenti Museveni obwali ku bitundu 90 ku 100 e Mubende bwe bukendedde ennyo okutuuka ku bitundu 47ku 100 lwa mivuyo egyali mu kamyufu ne pulezidenti Museveni okulemererwa okutuukiriza
ebisuubizo by’azze akola ssaako ekibbattaka ekisusse mu kitundu.
Kabakumba Matsiko yalabudde bannakibiina kya NRM mu kitundu kino okwewala enjawukana eziyinza okuvaako abooludda oluvuganya okuwangula ebifo mu kitundu kino wabula beegatte bawagire Pulezidenti Museveni n’abakwatira NRM bendera.
No Comment