Kanyama wa Bobi ,yasoose kukyalira bakadde be n’abasuubiza okudda amangu
Dec 29, 2020
FRANCIS Ssenteza Kalibbala 24, abadde kanyama wa Robert Kyagulanyi Ssentamu (Bobi Wine) yakedde kusiibula bazadde mu ssanyu nga tebamanyi nti lwe basembye okumulabako.

NewVision Reporter
@NewVision
FRANCIS Ssenteza Kalibbala 24, abadde kanyama wa Robert Kyagulanyi Ssentamu (Bobi Wine) yakedde kusiibula bazadde mu ssanyu nga tebamanyi nti lwe basembye okumulabako.
Bobi Wine yasinzidde mu kuziika e Kirowooza mu Kalungu eggulo n’ategeeza nti bwe bannyuse ku Lwomukaaga nga bavudde e Kyotera, Ssenteza yasabye banne bamukkirize agende alabe ku nnyina kuba yabadde atambulirawo ssiringi 1,000/- zokka.
Bwatyo Ssenteza yagenze mu maka ga bazadde be Ssaalongo John Kalanzi ne Florence Nakyejwe e Kimanya-Masaka gye yasuze.
Yakedde kuvaayo ku Ssande ku makya n’asiibula nnyina n’amusuubiza nga bw’ajja okuddayo mu bwangu amulabeko. Kyokka n’obudde tebwazibye ne bafuna amawulire agabategeeza nga bwe yabadde attiddwa.
Muky. Nakyejwe yagambye nti akkirizza Katonda ky’amugeredde kuba ye yamuwa Ssenteza era y’amututte mu ngeri gye yayagadde.
Irene Nansikombi, mwannyina wa Ssenteza yagambye nti omugenzi yasomera ku St. Francis Primary Villa Maria, S.1 okutuuka mu S.4 yali ku St. Joseph SS e Ssembabule gye yava okwegatta ku St. Anthony Kayunga n’amalira mu S.5 mu 2013 nga fiizi ziweddewo.
Ssenteza Lwe Baali E Kassanda.
Oluvannyuma yayiga okubajja era w’afiiridde nga gwe mulimu gw’akola ku Bbiri ng’odda e Bwaise mu Kampala.
William Ntege amanyiddwa nga ‘Kyumakyayesu’ yategeezezza nti Kyazze yabeegattako mu August wa 2018 Kyagulanyi we yagendera mu Arua okunoonyeza Kassiano Wadri obululu.
Kyokka wadde ng’olugendo lwali lwa ntiisa olwafiiramu ne ddereeva wa Bobi Wine, Yasin Kawuma kyokka tebyaterebula Ssenteza.
Ssenteza abadde akyogera nti ekimu ku byayingiza Bobi Wine mu bulamu bwe kwe kuba nga yali ayimba ku bulamu bw’ayitamu obw’okusoomoozebwa ng’omuvubuka.
Bwe yafulumya oluyimba lwa ‘Tugambire ku Jennifer’ n’amuwangulira ddala omutima.
Omugenzi yamwogeddeko ng’abadde ow’ebigambo ebitono era ng’okufuluma mu mmotoka amala kukakasa nti mukama we (Kyagulanyi afulumye).
N’emirundi egisinga poliisi lwetera okubateera emisanvu mu nguudo abadde tayanguwa kuva mu mmotoka nga tayagala kuwanyisiganya nabo bigambo. Kyabadde afaako ennyo kwe kukakasa nti mukama we talina buzibu.
Bakanyama ba Bobi Wine baayogedde ku munnaabwe ng’abadde omuvumu kuba wadde ng’alabye banne bangi abazze battibwa nga Dan Kyeyune, Aisha Nabukenya n’abalala naye yalemerako nga yeesunga kimu lunaku lwa buwanguzi.
Abadde abasuubiza nga bw’ajja okubatwala ewaabwe ku mbaga ye mu May wa 2021 nga Kyagulanyi amaze okulayira ku bwapulezidenti.
Omulambo olwaggyiddwa mu ddwaaliro e Lubaga gwasoose kutwalibwa ku ofiisi za NUP e Kamwokya ku Ssande ekiro n’oluvannyuma ne bagutwala e Kalungu awaabadde okuziika.
No Comment