Proline esaze Mbale Heroes embalu ne yeesogga 'Quarter' za Uganda cup

May 07, 2021

PROLINE FC abalina ekikopo ky’empaka za Stanbic Uganda Cup bongedde okulaga embavu n’ennyonta y’okukyeddiza bwe balumbye Mbale Heroes ewaayo ne bagiwandula mu mpaka z’omwaka guno.

NewVision Reporter
@NewVision

Bya GERALD KIKULWE

Mu Stanbic Uganda Cup

Mbale Heroes 0-1 Proline (Agg:1-3)

PROLINE FC abalina ekikopo ky’empaka za Stanbic Uganda Cup bongedde okulaga embavu n’ennyonta y’okukyeddiza bwe balumbye Mbale Heroes ewaayo ne bagiwandula mu mpaka z’omwaka guno.

Ku Lwokuna (May 6,2021) Proline y’azze Mbale Heroes mu biwundu bwe yagikubye ggoolo 1-0 n’eyitirawo ku mugatte gwa (3-1) okwesogga ‘quarter’ za Stanbic Uganda Cup sizoni eno oluvannyuma lw’okuwangula ensiike eyasooka (2-1) nga (May 2, 2021) mu kisaawe e Lugogo.

Ibrahim Ssendi ye yateebedde Proline mu ddakiika ya 26, mu kisaawe kya Mbale Municipal ne beegatta ku ttiimu endala 6 okuli; SC Vipers, SC Villa, Police FC, KCCA FC, Wakiso Giants ne Express FC ezaamaze edda okwesogga ‘quarter’.

Bul FC ekyalina okukyalira Kigezi Home Boyz e Kabale mu gw’okudding’ana okufunako ttiimu eyo 8 okwesogga ‘quarter’. Bul yawangudde ensiike esooka (2-1) ku Lwokubiri (May 5, 2021) ku kisaawe kya Kyabazinga e Bugembe.

Abaazannyidde Mbale Heroes; Bashir Ibrahim, Ibrahim Kibumba, Joel Ayala, Geoffrey Lubangakene, Jamaldine Buchochera, Faisal Kiberu, Vincent Owundo, Joel Male, Bosco Munyolo, Alex Kapyo ne Okori Luka.

Ku katebe; Hilbert Hatimu, Daniel Jakon, Davis Mayanja, Peter Otai, Joshua Opima, Brian Olega ne Edmond Wamboka.

Aba Proline FC; Sharif Magola, Brian Mato, Savio Kabugo, Ibrahim Sendi, Sula Sekamwa, Norman Kugonza, Gerald Kirya, Noordin Bunjo, Hamisi Kizza, Brian Umony, Rodgers Mato.

Ku Katebe; Nicholas Sebwato, Alpha Sali, Ivan Ocholit, Ramathan Juma, Hakim Kiwanuka.

 

Related Articles

No Comment


(adsbygoogle = window.adsbygoogle || []).push({});