Kigezi Home Boyz mu Big League egobye Twinamatsiko

May 08, 2021

KIGEZI Home Boyz eyali emanyiddwa nga Kabale Sharp FC mu Big League ekutte ku nkoona abadde omutendesi waayo Mark Twinamatsiko olw’okwolesa omutindo ogw’ekiboggwe n’obutakakkanira bakamaabe.

NewVision Reporter
@NewVision

Kino we kijjidde nga Twinamatsiko yaakamala okutwala ttiimu e Bugembe ku Lwokusatu lwa wiiki eno(May 5, 2021) gye baakubiddwa Bul FC ggoolo (2-1) mu nsisinkano esooka ey’empaka za Stanbic Uganda Cup ku mutendera gwa ttiimu 16, baakudding’ana wiiki ejja e Kabale okufunako eyeesogga ‘Quarter’.

Twinamatsiko yeegatta ku Kigezi Home Boyz nga October 30, 2020 gy’emyezi musanvu gyokka gy’atambuzza ku ndagaano y’emyaka esatu gye yali yateekako omukono.

Andrew Odong akulira emirimu mu ttiimu ya Kigezi agamba nti okugobwa kwa Twinamatsiko kwakkaanyiziddwaako bboodi era n’omutendesi yakkirizza naye nga byonna byakoleddwa ku lw’obulungi bwa ttiimu okukola obulungi n’okwezza obuggya mu kitundu kya Big League ekyokubiri ekisuubirwa okutandika nga May 16, 2021.

“Mu kiseera kino nga tulina okudding’ana ne Bul FC mu Uganda Cup, tutaddewo Denis Tusabe abadde atendeka ttiimu ya Kigezi ento, atuyambeko okutuusa nga tufunye omutendesi omulala,” Odong bwe yakakkasizza.

Twinamatsiko ajjukirwa nnyo bwe yasuumusa ‘The Saints FC’ n’agiyingiza ‘Super’(2014/15), Kitara FC(2019/20) n’okutuusa Doves FC omulundi ogwasookera ddala mu byafaayo ku mutendera gwa ‘Play offs’ za Big League(2018/19). Attendeseeko Kirinnya Jinja SS FC kati eyitibwa Busoga United, Kira Young FC, essaza lya Kyaggwe ne Bugerere.

Kigezi Home Boyz y’eddiridde asembye mu kibinja kya Rwenzori n’obubonero 7 mu mipiira 7. Tooro United y’ekikulembedde n’obubonero 15.

Related Articles

No Comment


(adsbygoogle = window.adsbygoogle || []).push({});